Office ya kaliisoliiso wa government erangiridde nti bagunjizaawo enkola eyokumutimbagano; abakozi ba government mwebagenda okuyita okulangirira eby’obugagga byabwe,kikendeeze ku muwendo gw’abantu ababadde bagaana okwanja ebyobugagga byabwe nga bekwasa engendo empaanvu.
Alipoota ziraga nti abakozi ba government abasoba mu 3000 beebagaana okwanja ebyobugagga byabwe eri kaliisoliiso wa government ng’a basing bekwasa nti office ze ziri wala n’ebitundu gyebakolera.
Kaliisoliiso wa government Justice Naluzze Aisha Batala asinzidde ku office y’omukulembeze w’eggwanga mu Kampala, ku mukolo government kwetongolezza omwezi gw’a bakozi baayo okwanja ebyobugagga byabwe eri kaliisoliiso.
Omwezi gwokutuukirizaamu enteekateeka eno gutandise nga 01 okutuuka nga 30 April,2026.
Minister w’abakozi ba government Muruuli Mukasa agambye nti government etaddewo enkola ezenjawulo neekigendererwa ekyokulongoosa obuweereza eri abantu ba bulijjo.
Muruli era agambye nti okunoonyereza kwebaakola kulaga nti abantu ba bulijjo abasinga obungi tebakyalina bwesige mu baweereza ba government olw’enguzi, ng’abantu ebitundu 47% beebokka abakkiririza mu mpeereza y’abakozi ba government.
Eggwanga lifiirwa ensimbi ezisoba mu trillion 10 buli mwaka, olw’abakozi ba government abeenyigira mu kulya enguzi.
Akulira abakozi ba government Lucy Nakyobe w’asinzidde n’asaba abakozi ba government okukozesa omwezi guno okwanja ebyobugagga byabwe eri Kaliisoliiso kikendeeze ku nsimbi government zefiirizibwa mu balya enguzi, era nategeeza nti ataakikole yenenye yekka.
Bisakiddwa: Ssekajjiija Augustus












