Ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga ekakasizza nga bweyatiise munnansi wa New Zealand, Reid Samuel James abadde amanyiddwa nga Muzungu Boda eyakyaka ennyo ku mikuttu emitimbagano olwo kusangibwa nga yenyigidde mu mirimu egyenjawulo nga talina biwandiiko bimukkiriza.
Ministry egambye nti Mungu boda yafulumiziddwa Uganda oluvanyuma lw’okusangibwa nga talina biwandiiko bituufu bimukkiriza kukolera mu ggwanga lino, kubanga abadde yajja ng’omulambuzi, kyokka abadde yatandika n’ekibiina ky’obwanakyewa (NGO) kyeyategeezezza nti kibadde kirabirira baana abatalina mwasirizi.
Ministry egamba nti omuzungu ono abadde ekolera mu bumenyi bw’amateeka nti sso ng’abadde akola ebintu ku bannauganda oluusi ebirinyirira eddembe lyabwe ng’abantu.
Omwogezi wa Ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga Simon Peter Mundeyi ategezeza banamawulire ku kitebe kya police e Naguru nti bamufulumizza Uganda amale okwetereeza era bwanaafuna ebiwandiiko ebituufu bajja kumukkiriza okudda akakalabye emirimu gye.
Mundeyi agambye nti yayingira Uganda ng’akozesa visiting Visa ,wabula abadde yava ku kyamuleeta natandika okwenyigira mu bintu byatalinako mpapula zimukkirizibwa kubikola.












