Kyadaaki government ekkiriza bus za Link okuddamu okusaabaza abantu, oluvannyuma lwókumala wiiki namba nga ziyimiriziddwa olwákabenje akaaliwo akafiiramu abantu 20.
Akabenje kano kaagwa mu bitundu bye Ssebitoli e Fortportal, abantu 20 baalugulamu obulamu, nábalala bangi bakyapooca omuli nómukyala eyafiirwako abaana basatu.
Baali batambulira mu bus ya Link No. UBA 003 S.
Abaafa kwaliko abantu abakulu 13 nábaana abato 7. Abasajja bali 11 abakazi 9.
Minister wébyénguudo némirimu Gen. Katumba Wamala abadde ku Media Center mu Kampala, nátegeeza nti bekennenyezza byonna ebyaliwo, nebazuula nti ensobi eyavaako akabenje, teyava ku kampuni wabula yava ku ddereeva yennyini, wadde nga naye yalina obukugu obwetaagisa.
Wabula Katumba Wamala alabudde bannyini kampuni ezisaabaza abantu okubeera nga ziddamu buli kadde nga zisomesa ba ddereeza baazo, okwewala okuvugisa ekimama, okwewala obubenje obwengeri ezo.
Bisakiddwa : Davis Ddungu