General . Muhoozi Kainerugaba mutabani wa president wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa.
Muhoozi yazaalibwa nga 24 April,1974 e Dar-es-Salaamu mu Tanzania.
Nga wa myaka 5 egy’obukulu lweyasooka okuleetebwa mu Uganda mu 1979 okutuuka mu 1981 lweyaddayo mu buwanganguse ne bazadde be nebagenda e Kenya, ng’olutalo lw’ekiyeekera olwakuleberwamu kitaawe lubiindabiinda.
Mu 1986, ng’olutalo luwedde yakomezebwawo mu Uganda era natandika okusoma ku ssomero lya Kampala Parents, gyeyava neyegatta ku Kings College Buddo ne St.Mary’s College Kisubi.
Bweyamaliriza secondary yeyongerayo mu Nottingham University e Bungereza n’akuguka mu bya Political Science.
Gen.Muhoozi Kainerugaba aayingira amagye nga wa myaka 25 gyokka egy’obukulu mu 1999 era naatandika okutendekebwa mu Uganda.
Mu mwaka 2000 yatwalibwa mu ttendekero ly’amagye erya Sandhurst Royal Millitary College e Bungereza naayongera okutendekebwa era yagenda okufuluma ng’ali ku ddaala lya Second Lieutenant.
Mu mwaka 2001 yalinnya eddaala n’afuuka Major,era nga yali aweerereza mu ggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga.
Mu mwaka 2007 yayongera okutendekebwa mu by’ekijaasi eby’ensonga e Kansas mu America, gyeyamala omwaka mulamba.
Bweyali yakadda okuva mu America yalondebwa okubeera omuduumizi w’eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya Special Forces Command, omulimu gweyakola okumalira ddala emyaka 9 okutuuka mu 2017.
Yatendekebwako ne mu matendekero g’ekijaasi e South Africa, Misiri n’ewalala.
Mu 2017 Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven yamulonda okubeera omuwi we ow’amagezi ku bikwekweto ebyenjawulo, era awo oluvuuvuumo werwatandikira nga bannansi bagamba nti yndiba nga gweyali ateekateeka okumuddira mu bigere nga president wa Uganda.
Mu mwaka gwa 2020 yaddamu n’amulonda okubeera omuduumizi w’eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga, okutuuka mu 2021.
Okuva mu June wa 2021 okutuuka mu October,2022 ye yali omuduumizi w’eggye eryokuttaka.
Okuva mu 2022 okutuuka nga 21 March,2024 abadde muwi w’amagezi eri president.
Gen.Muhoozi Kainerugaba ajjukirwa olw’obubaka bweyassa ku kibanja kye ekya X mu kiseera ekyo eyali eyitibwa Twitter, bweyategeeza nti Asobola okuwamba Nairobi mu bbanga lya wiiki emu yokka.
Mu bbanga lya myaka 25 gy’eyakamala mu ggye ly’eggwanga azze akuzibwa mu madaala ag’enjawulo okutuuka ku lya General, era nga kati ye muduumizi w’eggye erye ggwanga.
Agenze okulondebwa ku kifo ky’omuduumizi w’eggwanga, nga ye ssentebe w’ekisinde ky’eby’obufuzi ekya Patriotic League of Uganda.
Ekisinde kino ekya Patriotic Leaugue of Uganda kyeyubula okuva mu MK Movement era ng’abadde kyajje ategeeze eggwanga nti ateekateeka okwesimbawo okukulembera Uganda.