Munna People’s Revolutionary Party Frank Bulira Kabinga, asuubizza nti bagenda kulafuubanira obwenkanya nÉnfuga eya Federo, okulaba nga buli kitundu kya Uganda kiganyulwa mu byÓbugagga bw’Ensi eno.
Kabinga abadde mu district ye Bugiri gy’atandikidde kakuyegewe, agambye nti balina essuubi nti nga bakutte obuyinza bakulaba ng’ebitundu by’eggwanga byonna bikulaakanyizibwa kyenkanyi, nga besigama ku musingi ogwasimwa omutandisi w’ekibiina kyabwe omugenzi Dr.Aggrey Kiyingi.
Akabonero ka Revolutionary Paople’s Party Mpologoma.#













