Omumyuka wa Bwanamukulu w’ekigo ky’e Lubaga Rev Fr. Anthony Aliddeki Musaala alambudde CBS FM, ku buweereza bw’obutume bw’abaddeko ng’alambula abakristu abali mu kisomesa kye Namirembe.
Ku CBS FM, Fr. Musaala ayaniriziddwa Ssenkulu Omuk. Michael Kawooya Mwebe n’abaweereza abalala.
Omukungu Kawooya yeebazizza Fr. Musaala olw’okufissa obudde n’alambula ku baweereza ba Kabaka naddala mu kiseera kino eky’ekisiibo ekya 2026.
Omuk. Kawooya agambye nti CBS emyaka gyayo gyonna ezze ekolagana bulungi n’Eklezia Katulika mu ngeri ez’enjawulo, naddala okusitula eby’obulamu by’abantu ba Katonda ng’ewagira naddala ensiisira z’ebyobulamu n’okuyamba mu kuzimba eddwaliro ly’e Nkozi ng’eyita mu Kijjulo kya Kaliisoliiso.

Rev. Fr. Musaala asabye abaweereza okukozesa ekiseera kino eky’ekisiibo okwekubamu ttooci, okwenenya n’okunyweza okutabagana ne bannaabwe ate n’okusonyiwagana.
Rev Fr. Musaala yeebazizza abakulira Radio CBS olw’obuweereza obuganyula abantu bonna awatali kubasosola.#











