Ebibiina by’obufuzi okuli Alliance For National Transformation (ANT), UPC ne FDC bisabye akakiiko ka parliament akekeneenya amateeka ,kagobe ennoongosereza mu tteeka eryayanjulwa omubaka wa Mityana South Richard Lumu, ng’ayagala akulira oludda oluvuganya government mu parliment akubweko akalulu ababaka bonna abooludda oluvuganya government.
Abakulira ebibiina bino ababdde mu kakiiko ka parliament akalondoola eby’amateeka,nebagamba nti ennoongosereza zino zigenda kunnafuta ebibiina by’obufuzi
Gen Mugisha Muntu omukulembeze wa ANT agambye nti singa akulira oludda oluvuganya government akubwako akalulu mu parliament, aggya kuba w’amaanyi nnyo okusinga ekibiina ekimulonda, ekintu kyagambye nti kigenda kutaataaganya entambuza y’emirimu Munda mu bibiina byobufuzi
Asabye palament ereke ebibiina byesaalirewo ku kulonda akulira oludda oluvuganya mu palament
Ssaabawandiisi wekibiina ki ANT, Alice Also asabye akakiiko kagobe etteeka lino, lireme kussomwa mu parliament omulundi ogwokubiri, nti kubanga singa likkirizibwa okussomwa omulundi ogwokubiri, liggya kuyita ate litaataaganye ebibiina byobufuzi.
Ebbago lyomubaka Richard Lumu, akakiiko lyekali mu kwekeneenya lyagala ekibiina ekisinga ababaka mu parliament ku ludda oluvuganya government ,kyerondemu amannya g’ababaka 3 bekyesiga, ababaka bonna mu bibiina ebiri ku ludda oluvuganya government kwebaba balonda anaabeera abakulira.
Ssaabawandiisi wa UPC Fred Ebil agambye nti ebbago lino lijjidde mu kiseera kikyaamu, ebibiina byobufuzi biri mukwetegekera akalulu k’omwaka 2026, kwekusaba akakiiko ka parliament akabyemateeka nti kalitereke akakulu k’omwaka 2026, kamale okuggwa.
President wa FDC Patrick Amuriat Obbo agambye nti nga FDC baagezaako okulonda akulira oludda oluvuganya mu parliament nga bayita mu kukuba akalulu munda mu kibiina, wabula kaaleka kayabuluzza mu kibiina, nga n’olwekyo singa bakola ekintu kye kimu mu parliament, kyanditeeka ab’oludda oluvuganya mu kiseera ekizibu.