Christopher Okello Onyum eyatemula amabujje mu bitundu bye Gaba, asuubirwa okutwalibwa mu kifo gyeyabattira kooti gyeba etuula, atandike okuwerennemba n’emisango gy’obutemu.
Christopher Okello Onyum wiiki ewedde, yasuula eggwanga mu nsisi bweyalumba ekifo ewakuumibwa amabujje ekya Early Childhood day care Gaba, natemula abaana okukakana nga 4 abattiddewo, ate abalala yabatusaako ebisago eby’amaanyi.
Police wakati mu kulwanagana n’abatuuze abaali bagala naye okumutta, yamukwata era akyakuumibwa mu kadduukulu ka Police e Kabalagala.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yalagidde nti omutemu awozesebwe ku kyalo wennyini ewaabadde ettemu lino.
Minister Omubeezi ow’ensonga z’abaana n’abuvubuka Balamu Barugahara agambye nti ensonga z’okuwozesa omutemu ono government eyagala zikolebwe mu bbanga ttono nnyo, nti kubanga tewali kyetaagisa kutwala biseera mu kunoonyereza.
Minister Balamu Barugahara agambye nti omutemu ono abadde yetaaga kuttibwa mu nkola ey’okumukuba amasasi mu lujjudde mu kibangirizi kya City Square mu Kampala, kiwe abatemu abalala ekyokuyiga.
Okuva ettemu lino lweryagwawo, waze wawulikikayo amaloboozi nti omutemu ono aliko abantu abalala bazze atta, wabula ensonga ze nezituulwako.
Minister Balamu agambye nti n’ensonga ezo zonna zetaaga ziveeyo goverment etuukire ddala ku kinyusi ky’ebigendererwa bye.
Omwogezi wa police Kituuma Rusoke agambye nti fayiro y’emisango egivunaanibwa Christopher Okello Onyum bamalirizza okujikolako neewerezebwa eri Ssaabawaabi w’emisango wa government abalambike ku kiddako.#












