Kooti ye Kamuli mu Busoga esindise omukyala Namuganza Betty mu kkomera gyanaamala emyaka 15, lwakukakkana ku bba gwalinamu abaana basatu namusalako ebitundu bye eby’ekyama
Omulamuzi Aisha Nabukeera egambye nti Namuganza yali agezaako kutta bba.
Wabula bba Kawubanya Moses ng’ensala ya kooti ewedde agambye nti tamatidde nakibonerezo ekiwereddwa Namuganza,abadde ayagala asibwe mayisa.
Abalala ababadde mu kooti bategezezza nti ekyo ekibonerezo kitono, Namuganza eyajjula obusungu wakukomawo ate atuuse obuvune ku basajja abalala.
Bagamba nti waakiri yandimaze mu nkomyo emyaka 30.
Bisakiddwa: Kirabira Fred











