Eyaliko nakinku mu kucanga endiba ku ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Hassan Mubiru, ali ku muyiggo gw’ensimbi za Uganda ezisoba mu bukadde 10 okumuluongosa evviivi erimuluma entakera.
Hassan Mubiru ng’era omupiira yaguzannya ne gunoga mu club ya Villa Jogo Ssalongo ne Express FC mukwano gwabangi, agambye nti ayita mu bulumi bungi ddala obuva ku vviivi ate nga takyalina mulimu mwayinza kuggya nsimbi okujjanjaba evviivi lino.
Hassan Mubiru agambye nti obulwadde bw’evviivi yabufunira mu mupiira Uganda Cranes bweyali ettunka ne Nigeria mu mpaka za Africa Cup of Nations qualifiers mu 2007.
Agamba nti obuvune buno bwamuwaliriza okuwummula omupiira ku myaka 27 egy’obukulu.
Hassan Mubiru gyebuvuddeko yagobwa ku mulimu gw’okutendeka club ya Express, era mu kiseera kino talina mulimu.
Hassan Mubiru ajjukirwa nnyo mu myaka gye 90, bweyali azannyira club ya Villa Jogo Ssalongo ng’ali wamu ne Andrew Mukasa bombiriri bateeba goolo 14 mu season ya 1998, ate season eyaddako eya 1999 bateeba goolo 67 bombiriri.
Mu 2000 Hassan Mubiru yateeba goolo 25 omuntu omu, ekyawaliriza Express okumugula, era mu season ya 2001 ye yasinga okuteeba goolo 27.
Mu season ya 2002 ne 2003 yeyasinga okuteeba goolo 22 ne 21.
Mu mwaka 2005 Hassan Mubiru yava mu Uganda, yagenda e Rwanda ne Denmark kyokka eno ebintu byagaana okutambula obulungi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













