Omutawaana gugudde ku kizinga Mabo ekisangibwa ku nnyanja Wamala mu gombolola ye maanyi mu district ye Mityana, omusajja atemyetemye mukyalawe n’omuzzukulu ow’emyaka 3.
Omusajja kalibutemu ategerekese nga ye Matia Ssessanga ng’omukyala gwasse ye Joyce Namujumbi.
Police ye Maanyi etwala ekitundu kino ekutte Matiya, kyokka mpaawo kyategerekese ku kimubangudde okukola ekikolwa kino.
Tadeo Mukooza kansala akiikirira gombolola eno eye Maanyi akkakanyizza abatuuze ababadde bataamye n’abasaba okubeera abakkakkamu baleke police enoonyereze ku musango guno.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi












