Prof. Kanyeihamba yavudde mu bulamu bwensi nga 14 July,2025 ku myaka 85 egy’obukulu.
Yazaalibwa nga 11 August,1939.
Abantu abenjawulo nabakungu bakyagenda mu maaso n’okuweereza obubaka obusaasira family ya Prof George Kanyeihamba.
Prof. Ssempebwa Fredrick, munamateeka omuggundiivu nga yasomesaako ne Prof Kanyeihamba ku Makerere University agambye nti Kanyeihamba abadde wanjawulo ku bikwata ku mateeka.
Abadde alwanirira eddembe ly’obuntu, n’okuluηamya ebibiina ebyenjawulo ku nkwata y’amateeka.
Ssenkulu wa Kanyeihamba Foundation Norman Tumuhimbise agambye nti bakutegeeza eggwanga enteekateeka zonna ez’okuziika omugenzi nga bwezinaatambula.
Prof. G.W Kanyeihamba yalamulira mu kooti ya Uganda ensukkulumu wakati wa 1997 okutuuka mu 2009.
Yoomu ku baawoma omutwe mu kubaga ssemateeka wa Uganda owa 1995.
Yaliko Ssaabawolereza wa government ya Uganda.
Yaliko omusomesa w’amateeka e Makerere University.