Akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda kafulumizza enteekateeka y’okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa district ye Dokolo, ekyalimu omugenzi Cecilia Ogwal.
Okulonda kwa nga 21 March 2024.
Ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lw’okufa kwa Cecilia Ogwal eyali omubaka wa parliament omukyala owe Dokolo.
Enteekateeka efulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda, etandise n’okuzza obuggya enkalala z’abalonzi okuva nga 12 okutuuka nga 15 omwezi guno ogwa February 2024.
Egenda kukolebwa mu miruka 71 egikola district ye Dokolo
Okutimba enkalala z’abalonzi kwakumala ennaku 10 okuva nga 21 omwezi guno ogwa February, okutuusa nga 01 March,2024.
Omwogezi w’akakiiko kano Paul Bukenya enyonyodde nti Okusunsula abaneesimbawo ku kifo akakiiko kebyokulonda kalangiridde nti kwakukolebwa okumala ennaku bbiri okuli 11 ne 12 March.
Okusunsula kuno kwakukolebwa ku kitebbe Kyakakiiko Kebyokulonda aka district ye Dokolo.
Okunoonya akalulu eri abanaasunsulwa kwakumala ennaku 7, okuva nga 13 okutuuka nga 19, March olwo okulonda kubeewo nga 21 March,2024.
Kinnajjukirwa nti ekibiina ki FDC ekiwayi kye Najjanankumbi nnaku ntono eziyise, kyasisinkana muwala w’omugenzi Cecilia Ogwal nga ye Rosemary Alwoc Ogwal, kyamuperereza okukwata kaadi y’ekibiina kino okwesimbawo addire maama we Omugenzi Cecilia Ogwal mu bigere.
Wabula tekinakakasibwa oba nga mwetegefu okutwala obuvunaanyiizibwa buno.
Mu ngeri yeemu waliwo n’ebigambibwa nti ne NRM yatuukiridde Rosemary Alwac Ogwal okugikwatira bendera ku kifo kye kimu, wabula NRM yabyegaanye.