Owek Hajji Ahmed Lwasa, omumyuka wa sipiika w’olukiiko lwa Buganda era nga ye Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka okujjukira Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, alangiridde nti amatikkira ag’omulundi ogwa 32 gaakubeera ku muzikiti e Kibuli, nga 31 July,2025.
Gaakutaambulira ku mulamwa ogw’okukubiriza abasajja okubeera abasaale mu kulwanyisa siriimu.
Enteekateeka zigenda kubaamu ensiisira z’Ebyobulamu, ensiisira z’Eby’amateeka ne Bulungibwansi.
Owek Lwasa era agambye nti wagenda kubaawo n’okusaba okwokwebaza Katonda olw’Obulamu Obulungi Obwa Ssaabasajja Kabaka, n’Okusinza okunaabeera mu Masinzizo agenjawulo.












