• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda 2024: Ennyumba kibira –  Tegeyerwamu muntu

Eno ye Ntanda 2024: Ennyumba kibira – Tegeyerwamu muntu

October 15, 2024
Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

February 16, 2026
Police ekutte abantu 5 abateeberezebwa okubbisa emmundu – kigambibwa beebatta eyali ekulira police e Ntaawo Mukono

Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga

February 16, 2026

Abatendesi ba KCCA FC baweereddwa nsalesale wa mipiira 3 – bwegibalema okuwangula boolekedde okugobwa

February 16, 2026
Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

February 16, 2026
Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

February 14, 2026
Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

February 14, 2026
Abayizi ebitundu 99.7% baayise ebigezo bya S.4 ebya UNEB 2025

Abayizi ebitundu 99.7% baayise ebigezo bya S.4 ebya UNEB 2025

February 13, 2026
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirabo eri ebitongole byabwo ebyasiinga okukola obulungi emirimu mu 2025 – CBS eweereddwa ekirabo ekisukkulumye

Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirabo eri ebitongole byabwo ebyasiinga okukola obulungi emirimu mu 2025 – CBS eweereddwa ekirabo ekisukkulumye

February 12, 2026

Okusunsula abayizi abagenda okusoma S.1 kutandise – minister Muyingo alabudde amasomero agatunda ebifo

February 12, 2026
Brig.Gen. Jackson Pande Kajuba alondeddwa okuduumira enkambi ye Kasijjagirwa – azze mu bigere bya Brig.Gen.Deus Sande eyafudde ekibwatukira

Brig.Gen. Jackson Pande Kajuba alondeddwa okuduumira enkambi ye Kasijjagirwa – azze mu bigere bya Brig.Gen.Deus Sande eyafudde ekibwatukira

February 12, 2026

General Court Martial resumes Work after a one year Suspension

February 12, 2026
Abaali abakozi b’ekitongole ki Uganda Posta and Telecommunications Corporation ekyasattululwa mu 1997 –  bakyabanja government

Abaali abakozi b’ekitongole ki Uganda Posta and Telecommunications Corporation ekyasattululwa mu 1997 – bakyabanja government

February 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Archive

Eno ye Ntanda 2024: Ennyumba kibira – Tegeyerwamu muntu

by Namubiru Juliet
October 15, 2024
in Archive
0 0
0
Eno ye Ntanda 2024: Ennyumba kibira –  Tegeyerwamu muntu
0
SHARES
190
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu Program Entanda ya Buganda nga 14 October,2024 ku CBS 88.8 Ey’obujjaja, abamegganyi Kafeero Paul eyafunye obugoba 23 ne Nsobya George William eyafunye obugoba 20 basuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddirira, ate Ssemmanda Joel eyafunye obugoba 13 awanduse.

Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Tuwe erinnya eddala eriyitibwa omuti gwa Kiwanuka. …..Omuserere.

2. Ennyumba ya Ppookino omwami afuga essaza Buddu eyitibwa etya?….. Buddukiro.

3. Olugero: Nnaakuddamu ntya jjo…….Bwakukwata takuta.

4. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo okwalika…… Okumazaawo ebintu by’obadde olina, n’okumazaawo empiki ssinga oba obadde oyesa omweso.

5. Omwaka ekitundu ky’e Kkooki mwekyafuulirwa essaza lya Buganda…… 1894

6. Erinnya lya Kabaka eyawangula essaza Buddu…… Ssekabaka Jjunju.

7. Omuzizo omukulu ku nswa enkulu. ….Teziriibwa.

8. Amannya ag’obuntu og’omwami afuga essaza Buweekula…….Owek. Andrew Ssempijja Mukasa.

9. Omuntu atamanyi kimera ekiyitibwa Engabo y’ekyalo ogimunnyonnyola otya n’akitegeera?….. Ebyalibadde ebikoola byakwo bijjuddeko maggwa ate nga bigumu nnyo.

10. Erinnya ly’ennyumba ya Katambala omwami atwala essaza Butambala. ….Mayembe.

11. Olugero: Mpa magombe gazza….. Ng’embuzi eruma weesula.

12. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Okwebegera….. Okunywa ku mwenge nga tonnabaako mulala gw’owaako n’omukazi bwaba abega emmere asooka neyeebegera n’alyoka abegera abalala.

13. Kkooki, limu ku masaza ga Buganda, Kamuswaga ki eyakola endagaano nerifuuka essaza lya Buganda? ….Keezeekia Ndawula.

14. Kabaka eyawangula essaza Butambala….. Ssekabaka Kateregga.

15. Enswa ensiru ozaawula otya ku nswa endala?….. Enswa ezibuuka mu nkuba.

16. Tuwe amannya ag’obuntu ag’omwami afuga essaza Buluuli. ……Owek. Robert Ssonko.

17. Erinnya eddala ery’omuti oguyitibwa Omwerura…. Omusambya.

18. Ennyumba y’Omwami afuga essaza Ssingo yaweebwa linnya ki?…. Matutuma.

19. Olugero: Obukojja bwamunno… sibubwo.

20. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo okwanula…… Ekikolwa ekyokuggya omwami mu maaso ga Kakaba bwaba azze okweyanza obwami n’okulayira omulundi ogusooka, wamu n’okuggya ebintu mu luggya ebiba byanikiddwa.

21. Amannya ga Kabaka wa Buganda eyakola endagaano eyagatta ekitundu ekiyitibwa Kkooki ku Buganda? …..Ssekabaka Mwanga II

22. Tuwe Kabaka wa Buganda eyawangula essaza Buweekula. ……Kabaka Kamaanya.

23. Waliwo enswa abaganda ze bayita ensiru, tuwe erinnya lyazo eddala? ….Embaala.

24. Amannya ag’obuntu ag’omwami afuga essaza Buvuma. ….Owek. Michael Wamala Mboowa.

25. Ku mbizzi kuliko ekitundu kyebayita ekigalabi, kyekiriwa?……Ekitundu ekitwaliko omumwa n’ennyindo.

26. Olugero: Ennyumba kibira……Tegeyerwamu muntu.

27. Olulagala olutanneeyanjuluza nga lwerusoose ku kitooke luweebwa linnya ki?…… Olugemo.

28. Eryato ly’okumazzi teritambula, likola ki?…. Liseeyeeya.

29. Ekisoko Okuba ebule n’ebweya kitegeeza ki? Okuba nga waliwo ebbanga eryesudde ku bintu ebibiri.

30. Ekika ky’Abaganda ekirina Obutaka bwakyo e Kambugu mu Busiro. ….Njovu.

31. Omukeeka ogusinga obwangu okulukwa…..Kyaki.

32. Akakwate wakati wa Kibuuka Omumbaale ne Nalwoga…… Oyo ye nnyina omuto owa Kibuuka Omumbaale.

33. Olugero… Nnaasiwa mu kange… Asiwa mu kaabukuku.

34. Kabaka eyadibya empisa ya Nnamasole obutaddayo kulaba ku Kabaka…… Ssuuna II

35. Okufuuka Omusu gw’e Kanyanya kisoko kitegeeza ki?…… Kwekugenda awantu nga bakusuubira okudda naye n’osulayo.

36. Kizira okutega ekinyonyi kino, bwokitega olwala? Kinyonyi ki?…. Ngaali.

37. Tetugamba nti Omumbejja afunye olubuto, tugamba tutya?……. Nti Omumbejja muzito.

38. Tubuulire omuzaana eyasongoleranga Ssekabaka Nnakibinge emmuli bweyalinga mu lutabaalo…… Nannono.

39. Kkoyi kkoyi: Ku ngulu nnyama munda mucuuzi…… Ennyaanya.

40. Omutaka akuuma ekiwu kya Kabaka aba wa Kika ki?…. Lugave.

41. Akasanke nako kaba n’ekifuba, kiyitibwa kitya? …… Emmanda.

42. Olugero: Anaakutiisa embuga… …Nti omwami yeesaze akajegere.

43. Kabaka alina amannya ag’ekitiibwa okugeza Ssemanda, liggwayo litya?…… Ssemanda agamenya embazzi n’okuyunga.

44. Waliwo omuzaana eyakuuma Obuganda nga bba abuze, yaweebwa linnya ki olw’ekikolwa ekyo? …. Nnabulya.

45. Omuntu bwakugamba nti ebintu byo babitadde ku w’e Misindye, Ow’e Misindye yaani? …..Nnamutwe.

Bitegekeddwa Kamulegeya Achileo. K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi
  • Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga
  • Abatendesi ba KCCA FC baweereddwa nsalesale wa mipiira 3 – bwegibalema okuwangula boolekedde okugobwa
  • Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa
  • Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist