Mu Pulogulaamu Entanda ya Buganda nga 11 October,2024 ku 88.8 CBS.m abamegganyi; Ttamiiro Wamala Moses eyafunye obugoba 23 ne Musajjaalumbwa Joseph eyafunye obugoba 15 basuumusiddwa okugenda ku mutendera oguddako, ate Lubinga Tonny eyafunye obugoba 14 ye yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Ekika ky’abaganda ekirina omubala omuli ekisoko “Gwakwana amalirira” ….Kibe.
2. Olugero: Atamanyi bulumi bw’aliiso… Akwata mu lya mmindi.
3. Ani yawandiika akatabo Ebisoko n’engero ebyamakulu amakusike? …JC Ssekamwa.
4. Obutubulamu bw’Omuganda bweyolekera butya mu ngabana y’ennyama enjigge? Afunye omugabo omuneneko agabanyizaako banne.
5. Okulonda mu Uganda okwaliwo nga 10 .10 .1980, ani yali omukulembeze w’ekibiina ki Uganda Patriotic Movement?…. Museveni.
6. Ani Kabaka ayawa Katikkiro we ekitiibwa ekya Kabaka ow’ebweru? ….Ssekabaka Muteesa I
7. Mu Buganda muno mulimu omugga gwebayita Nnawandigi, tuweeyo essaza limu omugga ogwo mweguyita. ……Mawokota.
8. Abalunzi b’embizzi balina ekitundu ku mbizzi kyebayita leberebe, kyekiriwa?… Ku mabeere wansi awo.
9. Ekika ky’Abaganda omuli ekisoko, “Ekyamukuza kyali mu jjinja”…. Mpeewo.
10. Olugero: Agenekera…Atuma asa.
11. Ani yawandiika ekitabo” Kulya nnyingi” …..MB Nsimbi.
12. Ekiswa ekifulufu kirina bukulu ki mu mulimu gw’obuyizzi? ….Mu kiswa omwo mwebateeka omutwe gw’embogo eba yattiddwa ereme kubalulumira.
13. Nga 18 December mu 1980, mu Uganda mwalimu okulonda President, era mwetabibwamu ebibiina bingi, tuwe erinnya ly’eyavuganya ku DP?
… Dr. Paul Kawanga Ssemwogerere.
14. Mu Buganda mwalimu Kabaka eyafugira ennaku smwenda ku nnamulondo, yaani? …. Kabaka Mwanga I
15. Kyoja mugga ogusangibwa mu Buganda, tuweeyo essaza limu omugga ogwo mweguyita….. Buddu.
16. Embizzi nayo ebeere n’omuzimu okusinziira ku Baganda, omuzimu gw’embizzi gweguliwa? ….. Emimiro gyayo.
17. Ekika ky’Abaganda omuli ekisoko “Atambula nga mumbejja” ….Njobe.
18. Olugero. Kizzeeyo… Mwasiimira.Ani yawandiika ekitabo Luganda Proverbs? Fr. Fernanda Verzaz.
19. Kizira omuyizzi agenda okuyigga okusanga omukazi, bwamusanga akola ki? ….Amukuba oluyi (amukuba akayi nti oli mukwano gwange muka Ddungu nalyoka yeeyongerayo)
20. Okulonda okwaliwo nga 10 December 1980, kwetabwamu ebibiina bingi, ani yali omukulembeze wa Concervative Party? …. Owek. Joash Mayanja Nkangi.
21. Kabaka ki ekisubi gwekyagwa ku liiso, n’akisa omukono? ….. Kabaka Kiyimba.
22. Ziri miti ye bba w’emigga gyonna, omugga guno gusangibwa wa?…. Mu nnyanja Nnalubaale.
23. Ku mbizzi kuliko ekitundu ekiyitibwa omugina, kyekiriwa? …Omukira gwayo.
24. Mu mulimu gw’obukomazi nsaamu ki esembayo nga bamaliriza okukomaga? ….Enjeguzi.
25. Olusenyu omwasuulibwa omulangira Kimera lusangibwa mu ssaza ki erya Buganda? …..Ssingo.
26. Ekiriisa enkoko omuddo… Budde kuziba
27. Akola gwakukungaanya biganja otegeera nti akola mulimu ki? Aba akungaanya njala za nte.
28. Ekisoko Okwekuulira akabazzi ku kugulu kitegeeza ki? …..Kwereetera bizibu.
29. Amasiro ga Kabaka Kiweewa gali luddawa?…. Masanafu.
30. Mu mannya g’abamasaza mulimu eryava mu kutumira abatabaazi okukoma awo, yaani?…. Kkkangaawo.
31. Omuwemba ogusigala ebbali w’oluggya nga bamaze okwanula guweebwa linnya ki?….. Ogw’ensigalira.
32. Omuganda aziika mu ngeri ez’enjawulo bbiri abantu be ababa bamufuddeko, ze ziriwa? …Okuteeka mu ntaana n’okufugika.
33. Omwana azaalibwa ekiro ng’enkuba etonnya, aweebwa linnya ki? ….Mujumbi.
34. Olugero: Ggwanga na ggwanga… Liggwera ku mwenge.
35. Mu Luganda mulimu ekigambo enge, kitegeeza ki? ….Ettima.
36. Omutaka akulira ekika ky’Ekinyomo yaani? …… Omutaka Nakigoye.
37. Okufuuka akabwa ak’ebitanga kisoko, kitegeeza ki? …Okwefuulira omuntu bwemubadde mukolagana.
38. Ekika ky’abaganda ng’omuziro gwakyo kimera oluusi ekiyitwa Omuka. …….Kiwere.
39. Olugero: Bwoweeka gwotozadde… Oweeka aseeseetuka.
40. Bwebalamusa Kabaka nti Kulungi baba baagala kumanya ki? …..Baba baagala okumanya ekibuga nti kirungi.
41. Ekipimo mwebagerera embugo. …..Emitanda oba Omutanda.
42. Ekikolwa kyokuggya ebyoya ku nswa kiweebwa linnya ki? ….. Okukuyenga.
43. Ekisoko: Okulukira omuntu olutuula kye ki?….. Kusalira omuntu amagezi okumutaayiza aleme kubaako kyatuukako.
44. Ekyalo okuli amasiro ka Kabaka Kagulu Tebuucwereke. Bbuga.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K