Mu lumeggana lw’Entanda ya Buganda nga 5 Museenene 2024 ku 88.8 Ey’obujjajja, abamegganyi; Kizito Innocent eyafunye obugoba 26 ne Nnannyunja Hasfa eyafunye obugoba 17 baasuumusiddwa okugenda mu lumeggana olw’omutendera ogw’okusatu ate Ssentoogo Ashraf Mbaziira eyafunye obugoba 15 yawanduse.
Biibino ebibuzo by’entanda;
1. Olutiba lulina mugaso ki eri abalunnyanjaa? – Lukozesebwa okusena amazzi agaba gayingidde mu lyato ssinga liba liyingiza.
2. Ekigambo Vibe kicaase nnyo ensangi zino, kigambo ki eky’Oluganda ekiyinza okugya mu Vibe?…… Omuggundu.
3. Omuguwa gw’Omumbowa guweebwa linnya ki? …….Embowa.
4. Olugero: Mu bwana obungi…….Temubula kalya ngoma.
5. Ani yawandiika ekitabo Ekibalangulo?….. Muwanga Charles.
6. Waliwo Kabaka eyalagula nti gyebujja abaami bakutandika okulya mu butale, Kabaka ki oyo? ……Muteesa I
7. Amakulu ag’ebuziba ag’ekisoko okufuuka ow’e Malongwe……Okufuuka omuwuulu.
8. Ogwoto ogukumwa ku lumbe tutuumwa linnya ki nga lyekuusa ku nkejje? ….Walukejje.
9. Mu lulimi lw’abalunnyanja mulimu ekigambo Omunena, kitegeeza ki? …….Empewo ennyogoga ennyo.
10. Ekigambo Social Media ensangi zino kigandawaziddwa, kigambo ki eky’Oluganda ekigyamu? ……..Emikutu emigatta bantu.
11. Abambowa obategeera otya ssinga oba ogenze mu lubiri? Abambowa babeera n’embowa.
12. Olugero: Obuwangaazi bw’emmese… Bugirumisa ku ddiba lya kkapa.
13. Ani yawandiika akatabo Ebirooto ebyengeri….. Ssemwanga Kivumbi Bantubalamu.
14. Kabaka eyalagula nti gyebujja abaami baali baakulya mu butale yakisa mu mwaka ki omukono?….. 1884
15. Ekisoko okweserejja ng’akoola obulo kitegeeza ki? …..Okukola ekintu ekizibu ennyo n’okiggyayo bulungi.
16. Amakulu ki agali mu kalombolombo ka jjajja okubikka ba mulekwa olugoye ng’abaggya ku kifugi? Okunyweza obumu.
17. Ekikolwa ky’omumbowa okusiba omuntu omugwa kiweebwa linnya ki?…… Okubowa.
18. Ssinga omuvubi ayogera ekigambo nti ebbolyo, aba ategeeza ki? ……EKYENNYANJA EKIVUNZE
19. Ekigambo Network oyinza kukigandawaza otya?….. Omuyungirano.
20. Olugero: Embuuze z’enva… Nga mwannyoko yaazifumbye.
21. Ani yawandiika ekitabo Taasa Ettaka lyo?…. Emiriano Kayima.
22. Kabaka Muteesa yazimbisa akatale, kaaweebwa linnya ki? ….Omunaku eyeegulira.
23. Amakulu g’ekisoko Omumwa okubeera mu nnyindo……. Omuntu okunyiiga ennyo.
24. Ekikolwa kya bannyina ba nnamwandu okubaggya ku kifugi mu mukolo gw’okwabya olumbe kiyitibwa kitya? ……Okubaanula.
25. Ow’e Bukeerere okukwata omuntu kisoko, ani? …..Mulo.
26. Ekijjulo abantu kyebalya nga baakamala okubikka ebiggya? .. ..Emmere y’omuzzo.
27. Akawoowo akava mu nva z’ebinyeebwa nga tebiyidde bulungi kaweebwa linnya ki?….. Ssemuye.
28. Ani yawandiika oluyimba Olulimi lwange?…… Paul Kafeero.
29. Olugero: Wambwa ayiggira agage… Naagamukama we.
30. Olunywa lw’emmindi olumu Omuganda aluyita atya? ……..Akaba.
31. Omuzira mu Bazira wa 2005 ye Ddamba Kaye, yafuna ettaka ku kyalo ki? …..Kalambi.
32. Ekitiibwa kya Bwa Ssaabaganzi bwatandikira ku Kabaka ki?…… Ssuuna II
33. Ensimbi ez’ennono bwezisibwa ku luwuzi ziweebwa erinnya ery’ennono, tuweeyo limu….. Olusaggu.
34. Olugero: Bimanyweenda… Omunaku tayogera kaalidde.
35. Ekikolwa ky’okunyeenya ekita omuli omwenge gwetabule bulungi kiweebwa linnya ki?….. Kukuya.
36. Amaaso agaakula nga ga kyenvu yenvu gawe erinnya. ……Ag’olwenge.
37. Omusajja atuuse okuwa kyokka nga tannawasa aweebwa linnya ki? ……Omulangassa.
38. Lwaki abaana ba Kabaka baweebwa erinnya nti Abaana b’engoma……..Kubanga Mujaguzo nabo ebavugira.
39. Okulya omuntu mu ngalo kitegeeza ki?……. Okufuna ku muntu ekintu ekirungi.
40. Abaganda bawanuuza nti empewo eno bwesiba toosumulula, bwosumulula teri asiba, mpewo ki?……… Abalongo
41. Ekikolwa ky’okuggya ebyayi n’engogo ku bitooke nga bwobikka wansi kiweebwa linnya ki?……. Okusalira.
42. Ani yayimba oluyimba Baalaba taliiwo?….. Dan Mugula.
43. Ssempaka ennemeremu…….. Zikubya mukyawe.
44. Waliwo ekyalo mu Buganda ng’erinnya lyakyo lifaana n’ekitundu ekimu ekisangibwa mu Bayibuli? ……Galiraaya.
45. Lwaki Katikkiro ayitibwa Owoomumbuga?…. Kubanga ekisaakaate kye kiri kumpi n’olubiri.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K