Ebibuuzo by’Entanda nga bwebyabuuziddwa nga 26 November,2024 ku CBS 88.8 Ey’obujjajja ku mutendera Kajjampuni abalagadde mu bbwa.
1. Abavubi balina ekikolwa ky’omumiimya, kitegeeza ki?…… Omuvubi okukwata ekyennyanja ekito n’akizza mu mazzi.
2. Okubeera ng’emmese enkwatire ku mawolu kisoko, kitegeeza ki? …Okukukwatira mu kikolwa kyennyini eky’okusobya.
3. Ttimba ye muserikale w’engoma za Kabaka era Kabaka Kimera yeyajja nayo, ani yagimutonera?….. Omutaka Kidimbo.
4. Olugero: Ekyalo ekivuddeko omumanye…. Okiraza mumwa.
5. Omulangira Daudi Chwa okuzaalibwa, Kabaka Mwanga II teyali ku kibuga, tuwe amannya g’omuntu eyatwalira Kabaka Mwanga amawulire nti azadde? ……Zaakayo Luutu Naggwanvu.
6. Ani yawandiika ekitabo omuli omuntu Lupaapiira?……. G Mukasa (Tokiiya Ngonge nto)
7. Emitwalo amakumi ana mu musanvu mu kakaaga mu kikumi mu ataano… 476,150/=.
8. Erinnya lya Ssenkulu wa BBS Terefayina….. Eng. Patrick Ssembajjo.
9. Abavubi beeyambisa ebyambo mu mulimu gwabwe, ekyambo kye ki? …..Ebissi byebateeka ku malobo.
10. Okukola eggulumu kisoko, kitegeeza ki?….. Okunyooma bakamaabo nga baliko kyebakulagidde.
11. Olugero: Ekisuula entabi… Kyekikuwa entindira.
12. Munnaddiini eyabatiza Kabaka Daudi Chwa II….. Rev AJ Pike.
13. Amannya g’omuwandiisi w’ekitabo omuli Jeetu ne Jane……. MB Nsimbi (Bonna baasumagira)
14. Emitwalo amakumi asatu mu esatu m kasanvu mu bisatu mu ataano…… 337,350.
15. Erinnya lya Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation…… Adrian Andrew Mukiibi.
16. Ebika by’Abaganda bibiri ng’akabbiro kaabyo nga kayozi…… Omusu n’Empeewo.
17. Olugembya mu lulimi lw’abalunnyanja kye ki? …..Amasavu g’emmamba.
18. Okubeera eddenge kisoko, kitegeeza ki?….. Kitegeeza butabaamu makulu.
19. Mu mujaguzo mulimu engoma enkulu ssatu, Kabaka ki eyaleega Kawulugumo mu mujaguzo?…. Mutebi I
20. Olugero: Enkaliriza…Y’eriisa enkoko y’omugenyi.
21. Kabaka Daudi Chwa II yalina omuzungu eyamusomesanga, yaani?…… Situlooko.
22. Amannya g’omuwandiisi w’ekitabo omuli abantu; Suzaana, Kaawonawo?…… Kalinda (Bazibumbira)
23. Emitwalo kinaana mu etaano mu lukumi mu biriri mu ataano….. 851,250
24. Amannya ga Ssenkulu wa BUCADEF……. Omuk. Alfred Bakyusa.
25. Emirundi mingi nnyo obutiko bwawano bubeera n’akakwate n’enswa, tubuulire obutiko obulina akakwate ne Ggudu?…. Mbobya.
26. Ebika by’emiti bibiri ebibeera okumpi n’awaka nga gizira okufumbisibwa?…… Eppaapaali n’omuyaji ne omuwaanyi.
27. Nnaabagereka linnya kkulu nnyo wano mu Buganda, lyasookera ku ani?…. Nnaabagereka Irene Drusila Namaganda.
28. Olugero: Ssegulira emmandwa etuule… Nga byeyamulagula byatuukirira.
29. Omuntu gwebagamba nti alima kikuula ddima, omuntu oyo yaatya?…. Omuntu omunafu.
30. Mu lulimi oludda ku nswa mulimu ekigambo okummula, okummula kye ki?….. Embeera y’ekiswa okussaako ettaka eppya.
31. Ekisoko okutwala omuntu nga biwala ttaka kitegeeza ki? …..Okutwala omuntu mu mbeera embi naddala nga mulwadde.
32. Amannya abiri ag’ennono gooyinza okukozesa okutegeeza ensawo y’Omuganda….. Endyanga oba enfulebe.
33. Enju ya Kabaka mu lubiri mwakuumira Omulongo we…… Enjoga.
34. Omutaka asiigira Kabaka Omuzaana ayitibwa Kaddulubaale….. Omutaka Kinyolo.
35. Okukuba omuntu enkata kisoko, kitegeeza ki? ….Okuwa omuntu ekintu ekirungi.
36. Bwolya kaamulali omuka togamba nti akwokezza, ogamba otya?….. Ambaaladde.
37. Olugero: Kinywa kyamaggwa… Akisiba yaamanya bwakyetikka.
38. Omwami eyayitibwanga Kiggi, yaaliwa?…. Omukulu w’amakomera mu Buganda.
39. Mu lubiri lwa Kabaka mu nda mubaamu ekyoto, kiyitibwa kitya? ….Ekyolwotezo.
40. Erinnya Nnaalinnya kkulu nnyo mu bitiibwa bya Buganda, lyasookera ku ani?… Omumbejja Damali Nkinzi.
41. Empungu yayodde akamyu kaffe be…… Kkwa.
42. Mu Buganda ekitiibwa ky’obulamuzi kyasooka kuweebwa ani ow’amaanyi?…Stanislaus Mugwanya.
43. Olugero: Enkumbi okubula … Ewa munafu mpoza.
44. Kabaka eyatongoza omulimu gw’obukomazi mu Buganda. ….Kabaka Kimera.
45. Okuba n’ogwa Nanteza kisoko ekitegeeza okuba n’omukisa ogutafunika, tuwe ennono yaakyo…… Yazaala abalangira babiri era bonna nebalya Obwakabaka.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K