Mu Program Entanda ya Buganda eya nga 22 October, 2024, abamegganyi Nanteza Grace eyafunye obugoba 30 ne Njawuzi Lozio eyafunye obugoba 18 baasuumusiddwa okugenda mu lumeggana oluddako ate Lubuulwa Moses eyafunye obugoba 8 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda ebyababuuziddwa;
1. Mu njega eyagwa e Kiteezi oluvannyuma lwa kasasiro okubumbulukuka n’atta abantu, bameka abaakakasibwa nti baafiiramu?…. 35
2. Omutaka atikkira Kabaka Enguugu e Naggalabi… Omutaka Nnankere.
3. Olugero: Omulyowa-nsozi…Ye bwalwala tezimulyowa.
4. Abaganda bawanuuza nti ejjembe lirimba nnyo, lwaki bawanuuza nti ejjembe lirimba nnyo? Kubanga liva buziizi ate nerigamba nti livudde Buvuma.
5. Ekisoko, Agempisi okwetimba omuntu kitegeeza ki? Omuntu okuba n’amaddu amangi.
6. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Ekisinja. Kitegeeza ekyennyanja oba enkota y’ettooke ng’esaliddwamu wakati.
7. Empisa y’okuggya akaba yatandikira ku ani mu byafaayo bya Buganda? Omulangira Kalemeera.
8. Omugga ogwawula essaza Buddu ku Ggomba. Katonga.
9. Ennaku z’omwezi kasasiro e Kiteezi lweyabumbulukuka n’atta abantu. 10. 08.2024
10. Tubuulire omukulu w’ekika alundira Kabaka ente eyitibwa Ennambe. Omut. Nakirembeka.
11. Olugero: Omulungi alwa…Akaayuuka.
12. Amayembe gawasa, tubuulire erinnya lya mukazi w’ejjembe Kalondoozi. Nnalubowa.
13. Ekisoko, okubuuka nga ttena kitegeeza ki? Mwana okubeera nga mulamu bulungi.
14. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Ekisubi. Ekissibwa ku chai n’omusota.
15. Empisa y’okukongojja ba Kabaka yasookera ku mulangira ani? Omulangira Kimera.
16. Tubuulire essaza lya Buganda erisalagana n’ennyanja Kyoja. Buluuli.
17. Ani yali akulira KCCA enjege y’e Kiteezi weyagwirawo? Omukyal Dorothy Kisaka.
18. Tuwe erinnya ery’ennono ery’omukulu w’ekika omuva alunda ente ya Kabaka eyitibwa Nnaamala? Omut. Kalibbala.
19. Olugero: Obubulwa ggye…Busembeza emmandwa ku kika.
20. Waliwo ekintu abaganda kyebawanuuza nti ejjembe kyerisinga okwagala, kyekiriwa? Ssente.
21. Amakulu g’ekisoko Okuba n’amaanyi ag’oluyovuyovu. Okuba n’amaanyi amatono nga gava ku bulwadde.
22. Amakulu g’ekigambo Engoye. Entuula n’amalagala ga lumonde.
23. Nnamasole wa Buganda omubereberye yali yeddira ki? Nseenene.
24. Omugga ogwawula essaza Ssingo ku Busiro. Mayanja.
25. Omuzungu Sir Andrew Cohen kintu ekikulu Abaganda kyebasinga okumujjukirako? Kuwangangusa Ssekabaka Muteesa II
26. Olugero: Anaalemwa ebbuzi okutuga … Nti lintunuulidde.
27. Tuwe erinnya lya Kabaka nga lirina akakwate ku ssubi. Bukanjumbe.
28. Erinnya Bandobera lituumwa mu Buganda, lituumwa ddi? Lituumwa omwana omuwala nga munafu nnyo.
29. Ekisoko Okukwata ettaka kitegeeza ki? Kudduka.
30. Mu kika ky’engeye mulimu omubumbi akulira ababumbi bonna, yaani? Sseddagala.
31. Olugalo lw’omuntu olwawakati lwaweebwa linnya ki? Mmembekedde.
32. Mu bakabaka ba Buganda mulimu omu gwebaakazaakoerya Kireventende, yaani? Mmwanga II
33. Enkola y’okutuuma amannya ga b’omukwano abaana bo kiweebwa linnya ki? Kubbula.
34. Engalabi eyitibwa Ttimba nakati ekyakuumibwa mu Ngoma za Kabaka ani agikuuma? Kimoomera.
35. Olugero: Eyeewa ez’omumba gwe bazikuba.
36. Ensozi Bbowa ne Ssempa zisangibwa mu ssaza ki? Bulemeezi.
37. Omwezi ogwa June guweebwa linnya ki mu Luganda. Ssebaaseka.
38. Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono mulimu ekikolwa kya Lubaale okudda ku ngulu, kyekitya? Lubaale oyo aba yabula, naye bwaddamu n’alabaika olwo aba azze ku ngulu.
39. Eryato ly’okumazzi tebavuga vvuge, balikola batya? Baligoba.
40. Olugero: Ttooke ssake… Lyerikira okuwooma.
41. Ebyalo Bule ne Bweya biri mu kisoko bisangibw amu ssaza ki? Butambala.
42. Okukuba eky’omunkajumbe kisko, kyeki? Kisokomi.
43. Olulagala olutanneeyanjuluza nga sirwerusoose ku kitooke, luweebwa linnya ki? Mubumbu.
44. Emmindi y’Omuganda ebeerako eriiso, libeerawa? Wennyini w’ayisa taaba okumuteekamu.
45. Ekyalo okuli ekitebe ekikulu ekya Muteesa I Royal University? Kirumba Masaka Buddu.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo.