Mu pulogulaamu Entanda ya Buganda nga 10 October,2024, Abamegganyi Ssennyange Emmanuel ne Kizito Innocent abaafunye obugoba 26 buli omu, baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako ate Sseeguya Mark eyafunye obugoba 7 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Ani yawandiika akatabo Amaggwa n’emitego mu buvubuka? Ruth Kaboggoza.
2. Omuyizzi wa Kabaka omukulu ava mu kika ki? Kkobe.
3. Obukulu bw’ennaku z’omwezi mu byafaayo bya Uganda 11 April 1979 ne 26 January 1986…..Nga 11 April Idi Amiin yawambibwa ate nga 26 Gavument ya NRM lweyaggya mu buyinza.
4. Olugero. Anaatuubya engo… Embuzi asiba ku luzibaziba.
5. Amannya g’obuntu aga Mukwenda aliko kati. Owek. Deo Kagima.
6. Omuganda ayongera atya omutindo ku muwogo? Amusala n’amwanika n’amukaza namuggyamu obuwunga.
7. Waliwo Kabaka eyapaatiikibwako erya Lukeberwa, yaani? ..Ssekabaka Muteesa I
8. Okutuuza abantu ku nkanaga kisoko, kitegeeza ki? …Kunyumiza bantu mboozi empanvu etaggwa.
9. Ettu lya Ssenga, ani yawandiika ekitabo ekyo? … Ssenga Joyce Naluggya Toomusange.
10. Omusenero wa Kabaka omukulu yeddira kibe, aweebwa linnya ki ettongole? ..Sseruti.
11. Ennaku zino zirina byafaayo bya Ssekabaka Muteesa II? 19 November 1948 ne 21 November 1969. ….Nga 19 November 1948 kweyakubira enkanamu ate nga 21 November 1969 kweyakisiza omukono.
12. Olugero: Kimaza bbiri… Y’aliwa ogw’omugenyi.
13. Amannya ga Kasujju ag’obuntu. …Owek. Israel Lubega Maaso.
14. Emmere muwogo oluusi akaawa, kigambo ki ekirala ekitegeeza okukaawa? Okukyakyala oba okuyomba.
15. Waliwo Kabaka ayakazibwako erya Nnakuzaleewo, yaani? ….Ssekabaka Daniel Basammulekkere Mwanga.
16. Okusula mu kiyulu, kisoko, kitegeeza ki?…. Okusula nga musamira.
17. Ani yawandiika ekitabo Ssemasonga? …. Omulangira Kayondo Emmanuel.
18. Omukuumi w’ekyoto Ggombolola ekibeera ku wankaaki w’olubiri aweebwa linnya ki? ….Musolooza.
19. Nga 27 July 1985 ne 27 May 1980 zirina bukulu ki mu bulamu bwa Obote?… Mu 1980 yakomawo omulundi ogw’okubiri okuva mu buwanganguse ate mu 185 yawambibwa Tito Okello Lutwa.
20. Olugero: Abaakuno tebanjagala… Ng’ayambadde lukadde.
21. Amannya ag’obuntu ag’owessaza Kaggo aliko kati….Owek Ahamed Matovu Magandaazi.
22. Muwogo akola ddi ng’eddagala?… Bwakolokotwa n’asigibwa ku lususu lw’omwana alina olukusense.
23. Kabaka ayapaatiikibwako erinnya erya Kabirinnage, yaani?…. Ssekabaka Ssuuna II.
24. Okutunuza amabwa kisoko kitegeeza ki? …. Okutunula obubi.
25. Mu bakakaba ba Buganda waliwo omu abantu gwebaakazaako erya Kabaka omulungi, yaani? …. Daudi Cchwa II
26. Ensowera bweziba ennyingi zirina eddoboozi lyezikola, ddoboozi ki? …. Okungoona.
27. Olugero: Gaanya bba… Ng’afunye obuggyo.
28. Emmuli ezitwalibwa embuga tebazitema, bazikola batya? …Bazisimbula.
29. Edda Magunda yeyabanga omulamuzi omukulu, yalamuliranga wa? …E Lwanga mu Mawokota.
30. Abaganda baalina enkola y’okussa omuntu eddagala mu mubiri, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki? …Okusibaga.
31. Kkoyi kkoyi… Nnanti mbisi tabooza nnanti mbisi.. Omugga tegujjuza nnyanja.
32. Tuweeyo omugaso gumu ogw’endagala z’ebireka eri omukomazi ….. Bikozesebwa mu kusabika omutuba oguyimbuddwa.
33. Malayo erinnya ly’ekiwuka kino, Ekiku… Ekikutuzi.
34. Ekisoko Omutuggunda okubala emmwanyi kitegeeza ki? …Ebizibu okweyongera ku bizibu.
35. Olugero: Ekirya omunaku…Tekimumalaawo.
36. Omukulu w’abayizzi ba Kabaka aweebwa linnya ki? … Nnamukangula.
37. Ku mubiri gw’omuntu kuliko webayita ekiseke, we wa? Webasiba essaawa.
38. Omumbejja akulira bambejja banne abaana ba Kabaka aweebwa linnya ki? ….Nnassolo.
39. Obuntu obusalwa waggulu w’ettooke ne wansi waalyo nga bawaata, buweebwa linnya ki?.. Entooketooke.
40. Olugero: Ennyongereza teba ntono… Obuwandaggirize ku nnyanja.
41. Ensawo eweebwa lubuga eweebwa linnya ki? … Enkuti.
42. Ekika ky’Abaganda ekirina Obutaka bwakyo e Kiggwa mu Busujju. …..Mbwa.
43. Ebintu okubigulira olukato kisoko kitegeeza ki? ….. Okubivaako.
44. Essubi lyebasala olwokubikka olusuku liyitibwa litya? …Essisiro.
45. Kadoma akuze omumanyira ku ki? ……Bwokuba ku kiswa owulira awuuma.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K