Mu program Entanda ya Buganda nga 16 October,2024,abamegganyi Ssewannyana Mathew, Ssentoogo Ashraf ne Ssenfuka Masasi bebattunse mu bibuuzo eby’akaasa mmeeme ku CBS 88.8
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Enju entongole eya Ssebwana omwana afuga essaza Busiro yaweebwa linnya ki? ….Busirobuladde.
2. Ani yawandiika Ekitabo Kitikyamuwogo. …….S Kaddu
3. Emigaso gy’okulima ebiggya. Obumu wakati w’ababirima n’okulaga nti waliwo akakwate n’abalamu.
4. Olugero: Eddalu ekkazi………. Likongooza bba waalyo.
5. Abazzukulu mu kika kino bayitibwa abanjala, bebaliwa? ………….Aba Namungoona.
6. Omussi w’enswa bwaba ava okuzuuka enswa, ayogera bigambo ki abaasigadde awaka kwebamanyira nti azisse? …………………Abanaalya omugobe.
7. Olusozi Walussi luliko entikko mmeka ezimanyiddwa? ………….99
8. Ekigambo Omwolo kikwanaganye n’emmere efumbiddwa………. Omwolo g’emazzi g’emizingoonyo.
9. Ennyumba ya Mbuubi omwami afuga essaza Buvuma eweebwa linnya ki? ……….Buvumabuladde.
10. Ani yawandiika ekitabo Mirembe?……………………. Aloysius Matovu Joy.
11. Emizizo ebiri mu kulima ebiggya…………. Kizira mukamwana okulima ebiggya ebiriko ssezaalawe, era kizira okubirima omu.
12. Olugero: Ekira omukwano……………………..N’ekifi.
13. Abazzukulu mu kika kino bayitibwa Abakyanja nkete. Kika ki? ………………Ngonge.
14. Omussi w’enswa bwatuuka awaka n’ayingira mu nnyumba taddamu kufuluma makulu ki? ………Wayinza okubaawo ensolo ezze emulondoola n’emulya.
15. Omusiige omukulu ku lusozi Walussi aba wa kika ki?……………….. Lugave.
16. Amakulu g’ekigambo Amagangazzi? ………..Amazzi asangibwa mu njoka z’ekyayi nga kikyali ku kitooke.
17. Enju entongole eya Kkangaawo eweebwa linnya ki? ………Kasussoomumiro.
18. Ani yawandiika ekitabo Okuwangaala kulaba? ………….Ssemwanga Kivumbi Bantubalamu.
19. Obulombolombo bubiri mu kulima ebiggya………. Birimwa bangi, lwebirimwa musulawo
20. Olugero: Nnanyini kibya tayasa………… abumbirira.
21. Waliwo ekika ng’abazzukulu baamwo bayitibwa abalumika ttaka, kika ki? ……Akayozi.
22. Omuzizo ku nswa eyitibwa Omulalu otuwe n’ekigendererwa. ………………Omulalu taliibwa era teriibwa kubanga kiyinza okukanga endala nezitabuuka.
23. Olusozi Walussi lulina bukulu ki mu nsinza y’Abaganda ey’ennono? E……misambwa gyona egya Buganda kwegikungaanira.
24. Enkuba eyitibwa Ssanyulyabanafu, yeeriwa?……..Etonnya ku makya ennyo.
25. Ekikolwa eky’okuggya empumumpu ku kitooke eky’embidde kiweebwa linnya ki? ……..Kulaawa.
26. Akata akabaddemu amazzi kaatise omulundi gumu be…….. Ppya.
27. Omutaka akuuma ekiwu kya Kabaka? ………………Omutaka Mutuuza.
28. Ekisaaganda ky’ejjobyo kiyitibwa kitya? Omwenyi.
29. Okulagangana enkonge kisoko kitegeeza ki? …………………Kuwabuligana.
30. Olugero: Nte yafa… Tolema kulaga ddiba lyayo.
31. Abaleega engalabi beeyambisa ddiba lya nsolo ki ey’ennono?………………. Ttimba.
32. Eryato ly’okumazzi lirina eddoboozi lyerikola, liwe erinnya. ……………….Lisiira
33. Ekisoko Ekintu okuba kinnya na mpindi kitegeeza ki? ………..Okuba okumpi ennyo n’ekintu ekirala.
34. Ekikolwa eky’okubikira ekitanda kikolwa kitya? ……….Ekitanda kisimbibwa.
35. Olugero: Endwadde y’omwakano……..… Busobya.
36. Omuganda omuntu gwayita Byobo yaaba atya? ………..Omuntu ayogeza ekirimi.
37. Ekikolwa eky’okuvuga ennyonyi omuganda yakiwa linnya ki?………… Kuboonga.
38. Akabonero akaamafumu n’engabo Kabaka yasooka kukawanikira ku lusozi ki? ……..Nsambya.
39. Ekikolwa eky’okuggya omuko gw’olulagala ku kitooke kiweebwa linnya ki?…….. Kukooza.
40. Olugero: Agenda yaalaba…………………… Ow’ebbuba talaga nnaku.
41. Mu mpisa y’Abaganda ani akkirizibwa okuzza entobo mu kibbo? …………….Omukazi atakyazaala.
42. Ani akuuma omulyango Wansanso ku lubiri?……………… Ssaabagabo.
43. Engo ekyatunudde waggulu Omuganda yagiwa linnya ki?……………. Nkulimbye.
44. Ekisoko Okukoona ku Mujaguzo kitegeeza ki? ………………Okusobya Kabaka.
45. Ekikolwa abayizzi kyebakola ekyokussa ekyuma mu bulago bw’embwa zaabwe kiweebwa linnya ki? …………………Okuleega embwa.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K












