Abamegganyi; Kalyango Faruk eyafunye obugoba 36 ne Ssekatwa Cyprus eyafunye obugoba 17 mu Program Entanda ya Buganda, nga 31 Mukulukusabitungotungo 2024 ku CBS 88.8 radio Ey’obujjajja baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako, ate Nannyondo Scocia eyafunye obugoba 08, yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Omuziro gw’omumbowa Ssebatta…… Ngeye
2. Olubugo olusooka okuyimbulwa ku mutuba Omuganda aluwa linnya ki? ……..Nnassubula.
3. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Nnamukono. Omukazi atabaza mmere, n’omukazi alina amabeere agateenkanankana.
4. Olugero: Kigobe……. Kikira obugenyi.
5. Abaganda omuntu gwebayita Omulya nkaabire aba akola mulimu ki?……. Aba muyizzi.
6. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ensaasi,……… Ekivuga n’ensaamu esaaka olubugo.
7. Ani yawandiika omuzannyo Ettwale lya Vampire. ………Musisi Munnagomba.
8. Amakulu ag’ebuziba ag’ekisoko “Okuwerekera Mpinga mu kibira” …… Okwereetera ebizibu.
9. Omumbowa Mpinga yeddira ki? ……Lugave.
10. Olubugo olutaliimu kiraka kyonna luweebwa linnya ki? ……Embulakawero.
11. Amakulu g’ekigambo Ekikuuno. ……..Obuzibu obw’amaanyi n’ekibinja ky’embwa.
12. Olugero: Ogw’edda……..Tegukutwaza lumu.
13. Abaganda omuntu gwebayita omutemulansiringanyi aba akola mulimu ki? ……. Aba alimisa nkumbi.
14. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ebika. …….Waliwo emiziro ate n’okutegeeza enjawulo mu bintu eby’enjawulo.
15. Ani yawandiika omuzannyo Ndiwulira?……… Charles J Ssenkubuge.
16. Amakulu g’ekisoko, Okukuba akatabo……. Kulimba.
17. Omumbowa Nnasserenga yeddira ki?……. Ffumbe.
18. Olubugo olw’okubiri okuyimbulwa ku mutuba luweebwa linnya ki? …….Nnakabirye.
19. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Ekiriibwa………. Ekintu kyetulya oba ekirimba ky’emmwanyi ensibe (Amatu g’emmwanyi amasibe awamu)
20. Olugero: Omutabaazi gw’amanyi……. Gwakuba engabo.
21. Omuntu abaganda gwebayita Omulamba mmunyeenye, akola mulimu ki? …… Omugobi w’amaato ku nnyanja.
22. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Ensuwa. Ekibumbe mwetuteeka amazzi n’omwana ow’emputtu.
23. Ani yawandiika ekitabo Ettaala y’Obufumbo? ……Mugagga Mutale Ttendo.
24. Ekisoko, Omu kata omulala k’asala kitegeeza ki? …….Kubeera bamukwano nnyo.
25. Ekika ky’Abaganda ekirina Obutaka bwakyo e Mukungwe mu Buddu…….. Nnyonyi Ndiisa.
26. Oluusi ebitooke ebimu bibaako ebyayi ebyeru, biweebwa linnya ki? …..Nnamweruka
27. Olugero: Emyungu emiwagiikirize… Gyasa entamu.
28. Omuntu gwebayita kakira ka mbuzi y’aba atya? ………Ye muntu ateekisiza kintu kyonna. (Atakuuma byama)
29. Ekisoko, Okukkirira ezzangwa kitegeeza ki? …….Kufa.
30. Embuga enkulu ey’essaza Kkooki esangibwa ku kyali ki? ……Laakayi (Rakai).
31. Ettooke nga bwoba onaalifumba toliwaata, ttooki ki eryo? …….Mukubakkonde.
32. Omuzizo gumu omukulu ogudda ku balongo ne bantu bannaabwe……… Abantu tebalina kunyiiza balongo abo.
33. Olugero: Ekisiimibwa omuyise……… Omutwalirwa tasiima.
34. Ensawo omukuumirwa ensaamu eweebwa linnya ki? …..Ekisembeeko.
35. Ekiswa enkuyege zekisenguseemu, kiweebwa linnya ki? …….Ekifulufu.
36. Bwetwagenze okuyigga twasanzeeyo Omusanje, Omusanje kyeki? ……..Omwana gw’engabi ogutakyayonka.
37. Okuba lukololera mu nkande, kisoko kitegeeza ki? ……Omusajja aganza bakabanne.
38. Amasiro ga Kabaka Kyabaggu gali luddawa?……… Kyebando.
39. Abayimbula omutuba bakozesa nnyo omututumba, gwegutya? …….Omutima gw’ekitooke.
40. Amasiro ga Ssekabaka Tebandeke gali luddawa? ……Bundeke.
41. Okuliira omuntu muli, kisoko, kitegeeza ki?…….. Kwogera ku mukwanogwo.
42. Lubaale abaza emmere…….. Nnagawonye.
43. Olugero: Biggweredde awo… Nga gwebageya atuuse.
44. Ekyayi ky’ekitooke ekiyitibwa ekya ggalwe kyekiba kitya?……. Ekikaddiyidde ku kitooke.
45. Ssinga owulira omuntu ng’akugamba nti baasuze wa kiggi, otegeera ki?….. Baba baasuze mu kaduukulu.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.