Abamegganyi mu Program Entanda ya Buganda nga 23 October,2024 ku 88.8 Ey’obujjaja ne You Tube CBS FM Official Channel; Ssennono John Baptist eyafunye obugoba 30 ne Bisaso Ibrahim eyafunye obugoba 14 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Mulongo Babirye Gertrude eyafunye obugona 10 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Tuweeyo omuzizo gumu ku mazzi agassibwa mu mubizi ogugenda okuyiiyibwamu omwenge. ……Tegakimwa ku nzizi za njawulo.
2. Erinnya ery’ennono ery’omukulu w’ekika omuva omusajja akubira Kabaka empafu…….. Omutaka Ndugwa.
3. Olugero: Amaanyi amangi………………..Gatta ejjuba.
4. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Oluwe. ………..Obuti obubeera mu kiyumba ky’enkoko kwezisula.
5. Embiri za bannamasole bbiri ezisangibwa mu ssaza Bulemeezi……………… Tewali.
6. Emmandwa okulannama kisoko, kitegeeza ki?………………. Ebintu okutambula obulungi.
7. Amatama g’enkumbi ge galiwa? ………………Ebbali n’ebbali w’enkumbi.
8. Lumonde alengera ddi enkofu? ………………Amalagala nga tegannabunduka.
9. Omuzizo gumu omukulu ku ssubi erigenda okweyambisibwa mu kusogola embidde………….. Terisula nga ssibe.
10. Erinnya ery’ennono ery’omukulu w’ekika omuva omuntu ayiisa omwenge gwa Kabaka. ………………..Omutaka Muyige.
11. Olugero: Asekerera ekibya… Asekerera akibumba.
12. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Omwolo……….amazzi g’emizingoonyo n’omuntu omwavu ennyo.
13. Erinnya eddala eriweebwa olusaka lwa Nnamasole…… Olusolesole.
14. Embaga okukula kisoko, kitegeeza ki? ……Ebizibu okweyongera.
15. Obwogi bw’enkumbi buweebwa linnya ki ettongole?…….. Omusa.
16. Lumonde akubiddwa obulwadde bwa zibugo, afaanana atya? ………………..Aba ng’omufumbe songa mubisi.
17. Ebigambo bino bikwananaganye n’omulimu gw’okuyiisa omwenge “eyakubye kitaawe, eyakubye nnyina”……. Byogerwa omuntu asiwa.
18. Erinnya ery’ennono ery’omukulu w’ekika omuva omusajja avuba enkejje eyalula abaana ba Kabaka. …..Omutaka Mukalo.
19. Olugero. Ssemaluulu ga kyalo….… Tegakusuuza bbuzi lyo.
20. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ebbonda. ……Olukudumu olutuula wansi mu kita ky’omwenge n’omuntu ow’ettima.
21. Embiri za Nnamasole bbiri ezisangibwa mu ssaza Kyaddondo………….. Mpereerwe ne Kagoma.
22. Ekisoko okuggya enta mu kintu kitegeeza ki? …………….Bintu kubivaako.
23. Akatundu ku nkumpi akagulumivu akagibeera wakati, kaweebwa linnya ki? ……………Omugongo gw’enkumbi.
24. Lumonde ayitibwa ekinunku yaaliwa?………………… Y’awoomerera ennyo.
25. Mu bakabaka ba Buganda mulimu gwebaakazaako erya Kyetutumula, yaani?……………. Kabaka Ssuuna II.
26. Olugero: Ddagala kka…….. Lyerituuka ku ndwadde.
27. Amazina amaggunju tebazina mazine, bagakola batya? ……………….Babina mabine.
28. Oli baakutte mmome, emmome ki? ……..Ekyennyanja ekireetebwa amayengo negakisuula ku bbali.
29. Muteesa I yaddiramu ab’obugulu obutono, abo beyaddiramu yabaddira atya?………. Yalagira abasajja okutandika okwambala empale empanvu baleme kuswala.
30. Omwezi gwa May tuguyita tutya mu Luganda? ……….Muzigo.
31. Kabaka Kimera yazaalibwa Kibulala, mu kiseera ekyo ani yafuganga ekitundu ekyo? ……..Omukama Winyi.
32. Enjawulo wakati w’ebigambo, amagumba n’amagufa………………… Amagumba gaba mu nnyama ng’omuntu mulamu so bwafa n’atasigaza mubiri gafuuka magufa.
33. Olugero: Ekiri waggulu………… Kirwaza enkoko olukya.
34. Omwaka ebbaluwa ya Kabaka Muteesa I mweyayitira abasomi okujja mu Buganda weyaweerezebwa……. 1875.
35. Waliwo ekiddo ekiyibwa ekituntu, erinnya ekituntu limalibwayo litya?……. Ekituntugulu.
36. Enku enjase obulungi nezisengekebwa bulungi, ziweebwa linnya ki? ……….Omusingi.
37. Ekisoko, Okumira ekintu obugobo……… Okukola ekintu nga teweefumiitirizza.
38. Omuganda enkoko gyayita ey’ejjembe yeeba etya? ……..Enkoko empanga ng’erina ejjindu.
39. Mu mannya agatuumwa abaganda mulimu Waalanga, lituumwa ddi? ……. Lituumwa omwana omuwala asembayo okuzaalibwa.
40. Olugero: Kigere kya mbogo………… Okyegezaamu egenze.
41. Amasiro ga Kabaka Mutebi I gasangibwa ku kyalo ki? ……..Kkongojje.
42. Tunnyonnyole Omuganda omwenge gwayita Enturiigi, ………Omwenge ogwonooneka naye ng’okwonooneka kwaviiridde ddala mu lyato.
43. Enku za Lubaale Kaliisa zijjibwa ku muti ki? ……..Tewali muti, kubanga buba busa.
44. Mu mannya g’abaami b’amasaza ga Buganda mulimu eritegeeza omwami atumibwa………. Mukwenda.
45. Kabaka takaaba akola atya? Ayunguka.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo.