Mu program Entanda ya Buganda eya nga 29 October 2024 ku 88.8 Ey’obujjajja, abamegganyi Balunginsiiti Stevens eyafunye obugoba 27 ne Ssemyalo Herbert eyafunye obugoba 20, baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako ate Bagenda Sseruwu eyafunye obugoba 15 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Erinnya ettongole ery’Omutaka akulira ekika ky’abeddira Enswaswa…….. Omutaka Mayengo.
2. Ebiwuka bibiri ebitambuza obulwadde bwa Toduula obutawaanya ennyo ebitooke………. Enjuki ne kaasa.
3. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ekkosi……… Akamyu akato n’ekitundu wakati w’obulago bw’omuntu n’ebibegabega.
4. Olugero: Omugagga w’emmere…Enjala ettira ku kkubo.
5. Ekibuga kyonna kicuuma be…….. ccu.
6. Omuwandiisi w’ekitabo “Zonna Mpayippayi” ……..Waalabyeki Magoba.
7. Weefuule ssenga w’omuwala agenda okufumbirwa omubuulirire. …….Mwana wange omuwala nkusibirira entanda ng’ogenda okufuna eddya eriryo, tolabagananga, obeera nga mufumbi
8. Omukozi asima ebinnya by’emmwanyi 1000 nga buli kimu akisimira sh.350, ogenda kumusasula mmeka? …….350,000/=
9. Omutaka akulembera ekika ky’Amazzi g’ekisasi. ………Omukata Wooyo.
10. Obubonero kwolabira ekitooke ekirwadde toduula. ………Kiwotoka endagala n’ettoole likogga eminwe negifuuka langi enzirugavu.
11. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo empumumpu. ……..Ey’ekitooke n’obutimba obupya obutavubangako.
12. Olugero: Nsambu yeewala…Ekuliisa lwa ggulo.
13. Obudde bukunidde be ……Kkuni.
14. Omuwandiisi w’ekitabo Ezaali embikke……. Shugo Ssematimba.
15. Weeteeke mu kifaananyi ng’osiibula omwana wo agenda ku kibuga okukola, musibirire entanda…… Mwana wange ku kibuga gyolaga siwangu, weegendereze emikwano, mukama wo muwulirenga…
16. Bbulooka emu efulumira ku sh.60, olwo 10000 zifulumira ku ssente mmeka?….. 600,000/=
17. Omukulu w’ekika ky’abeddira Ensuma…… Omutaka Kibondwe.
18. Engeri bbiri otangire ebitooke obutalumbibwa bulwadde bwa toduula…… Okusalangako empumumpu zonna mangu wamu n’okwewala okuleeta mu lusuku endu ezivudde mu lusuku omuli obulwadde buno.
19. Erinnya eddala lyetuwa enva endiirwa…… Enseruzwa.
20. Olugero: Ssebugenyi bwansanafu….. Gwezizinda teyeebaka.
21. Ensawo eno nkalu be…… ngwa.
22. Omuwandiisi w’ekitabo Amaggwa n’emitego mu buvubuka……. Kaboggoza.
23. Omuzadde nga muwalawo agenda mu ssomero ly’ekisulo, mubuulirire. ……Muwala wange ogenda okwanganga obulamu obw’ekisulo, weegendereze nnyo, teweemakula, weewale emikwano egitakuzimba, wulirizanga abasomesa bo, faayo nnyo ku kikututte era osome bulungi.
24. Omukozi bwaba nga buli kinnya kya kitooke akisimira sh. 700, ku binnya 200 ogenda kumusasula ssente mmeka?……. 140,000/=
25. Embuga y’essaza Kyaddondo esangibwa Kasangati, yava wa okudda awo weeri?……. Mbuya.
26. Ekisoko, okukuba omuntu akalali kitegeeza ki?……… Bunyoomi.
27. Amasiro ga Kabaka Kayemba gali luddawa? ……Nnabulagala.
28. Olubugo omuganda lwayita Embula luba lutya? …….Lwelwo omutaba buyungiro bwonna.
29. Olugero: Akamwa akangu… Kakuyitabya ow’ebbanja.
30. Amasiro ga Ssekabaka Kimbugwe gasangibwa wa?…… Bugwanya.
31. Ettu ly’emmwanyi tebalisiba mu kyayi kya gonja, lwaki? …….Kubanga Gonja ye mujjwa w’olusuku.
32. Omuziro gw’Abaganda ng’ebikoola byagwo biriibwa ng’enva……. Empindi.
33. Olugero: Ekigambo ekirungi….… Kisuza empisi ku lugo.
34. Ng’oggyeko obutaggyibwa omu, tuweeyo omuzizo gumu omulala ku butiko……. Naawe bwosanga ababuggya tobayitako, okyama naawe n’oggya.
35. Omutaka w’e Nnyimbwa kisoko, yaani?……. Wabulenkoko.
36. Ebitoogo bwebyekoleeza byokka, omuliro ogwo guweeebwa linnya ki? …..Nnamuyenje.
37. Ebiti ebinyweza omukomago mu ttaka biweebwa linnya ki?…….. Embaali.
38. Omuntu ayitibwa mulangambi yaatya?….. Omusajja afiiriddwako omukyala.
39. Omuti ogukuma ekyoto Ggombolola ziva ku muti ki?….. Mukookoowe.
40. Olugero: Ekisa ekiyinga…… Kikulumya ejjenje.
41. Obutiko bwebayita nnabiswa businga kumera mu bitundu ki eby’eggwanga lino?….. Ku biswa.
42. Ekisoko, okukwata mu mmanvu kitegeeza ki?….. Kujulira.
43. Ekyayi kyebeekwatako nga basogola embidde, kiweebwa linnya ki?….. Ekigamba.
44. Erinnya eryapaatiikibwa ku Mulangira Kalemeera nga liva ku mulimu ogwali gumututte e Kibulala. …….Mutikizankumbi.
45. Omutaka omukulu w’ekika ataalabanga ku Kabaka…….., Omutaka Nsamba.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K