Eklezia eno eri ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo, mu Kira municipality mu district ye Wakiso.
Lutikko eno ke kabonero ak’ekifo awakungaanira abantu abalamaga okuva ebule n’ebweya buli nga 03 June, okujjukira abajulizi ba Uganda e Namugongo.
Eklezia eno wetudde, naddala mu kifo awali Alutaali wewaayokebwa omujulizi Kalooli – Lwanga.
Eklezia y’ekiggwa kye Namugongo yawagikibwako empagi eziwera 22, nga buli emu esiimbye mu buwuufu bw’Omujulizi.#