Ekitongole ekivunanyizibwa ku mbeera y’obudde ekya Uganda National Meteorological Authority, (UNMA) ne wofiisi ya Ssaabaminisita, balabudde banna Uganda okweteekerateekera ekiseera eky’enkuba naddala ku nkomerero y’omwezi guno ogwa February ne March,2026.
Mu kiwandiiko ekitereddwako omukono gwa kaminsona Mwenyi Davis, ku lw’omuteesiteesi omukulu mu wofiisi ya ssabaminisita, kiraze nti enkuba ey’amaanyi esuubirwa okutonnya, eyolekedde okuviirako amataba mu bitundu byeggwanga ebimu naddala mu bitundu ebiriranye ennyanja Nalubaale n’ebitundu ebirala nga Bukedi.
Embeera eno yandiviirako okubumbulukuka kw’ettaka, mu bitundu eby’ensozi okuli Mountain Elgon n’ebitundu bye Kigezi, era abawangaalirayo basabiddwa okwetegula ebitundu ebyo mu bwangu.
Mu mbeera eyo, gavumenti ewabudde abantu mu bitundu bya Kampala n’ebibuga ebirala okuba obulindaala kuba enkuba eno, esuubirwa okuteteganya enzirukanya y’emirimu nga kwotadde ne by’entambula okuba ebyakasoobo ddala, amataba ne kibuyaga ow’amaanyi.
Abalimi bakubiriziddwa okwetegekera okusiga emmere ekula amangu n’okusimba emiti egyebibala.
Dr. Bob Alex Ogwang, akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku Uganda National Meteorological Authority, (UNMA), agambye nti enteekateeka eno egendereddwamu okulabula abantu okubeera obulindaala ne government okwetegekera okwaηanda embeera ey’obutyabaga singa bubeera buguddewo.
Dr. Bob Alex Ogwanga, agambye nti basuubira okufulumya ennambika empya enaalambika enkuba bweneeba mu bbanga ery’emyezi 3 ejiddako okuva mu mwezi gwa March.
Bisakiddwa: Ddungu Davis











