Ab’ekitongole ky’enteebereza y’obudde mu ggwanga ekya Uganda National Meteorological Authority balabudde abantu abali mu bitundu ebiriraanye ennyanja Nalubaale, nti enkuba erimu embuyaga yakwongera okutonnya okutuusa ku nkomerero y’omwezi ogujja ogwa May 2023.
Enkuba erimu kibuyaga eze ettonya era nga yalese ebitundu ebimu naddala mu districts eziri mu Buganda ng’esudde ennyumba z’abantu, etikuddde obusolya ku bizimbe by’amassomero, ng’eyononye ebirime n’emmere y’abantu.
Yusufu Nsubuga omukugu mu by’okuteebereza embeera y’obudde mu kitongole kya Uganda National Meteorological Authority ategezeza nti enkuba bwetyo yakweyongera okutonnya n’alabula abantu okubeera obulindaala.
Nsubuga asabye abantu naddala abalunzi n’abalimi okukozesa omukisa guno okulembeka amazzi gebanaakozesa mu kiseera ky’ekyeya ekigenda okubeerawo wakati w’omwezi gwa June okutuuka mu mwezi gwa August.
Mu mbeera yemu Yusufu Nsubuga agambye nti bagala abantu bakozese enkuba eno okusimba emiti mukawefube w’okuzaawo obutonde bw’ensi.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico