Namutikkwa wénkuba afudembye mu kiro alese abatuuze abawerako mu gombolola ye Lubaga, Kawempe ne Makindye nga bakaaba olwénkuba okutikkula obusolya bwámayumba nókusuula emiti nejiziba enguudo.
Enkuba eno ebademu kibuyaga owámaanyi asudde ebikomera byábantu,amazzi abalala gabayingiridde era abasinga enkuba bwetabuse mu kiro amayumba bagadduseemu okutaasa obulamu.
Ssentebe wékyalo masanafu Kinoonye Kabuuka Ssepiriya ategezeza cbs nti basuze ku bunkenke bwennyini, omuli n’ababbi abazinzeeko ekitundu.
Abatuuze abawerako mu Masanafu, Lungujja Kosozo,Nateete mu kigagga n’awalala basuze mu mazzi nga nábazigu batuuse nókubayingirira ekiro mu nkuba.#