Enjuki zikyankalanyiza omukolo ogutegekeddwa ababaka bakabonda ka NRM abava mu Buganda ogugendereddwamu okunonyeza Omukulembeze w’eggwanga obuwagizi n’ekibiina kya NRM e Lwengo era guyimiridde okumala akabanga.
Omukolo guno gubadde mu kisaawe kye ssomero lya Mbiriizi Seed SS.
Enjuki zino zigeze okwogera kutandiise neziziinda omukolo era ziriko n’ekkamera zabamawulire kwezekutte n’eziremerako.
Embeera ebadde yabunkenke eri ba Minister ababaddewo, ababaka ba Parliament n’abawagizi b’ekibiina kya NRM ababadde bakuηaanye.
Bwezeeyongedde obungi, kiwaririza abategesi b’omukolo okuggyawo abagenyi bonna n’ebabatwala kukyemisana nga bwebaliinda embeera okukkakana.
Oluvanyuma embeera ezze mu nteeko nga wayiseewo akabanga olwo omukolo n’egugenda mumaaso.
Amyuka Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM, Rose Namayanja Nsereko asabye banna kibiina kya NRM okukendeeza entalo mukibiina naddala mu kulonda okugenda mu maaso, okw’okulonda abakulembeze b’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo.
Minister w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Amos Lugoloobi ategezezza banna NRM okukimanya nti baliko bingi byebagala Government okubakolera naye byonna tesobola kubikola mulundi gumu, nga nabwekityo balina okugumukirizaamu.
Minister omubeezi ow’ebyensimbi avunaanyizibwa ku Micro Finance, Hajji Kyeyune Haruna Kasolo yekokkodde abakozi ba Government abezza ensimbi Government zewereza okulakulanya abantu, era alagidde RDC wa Lwengo okunoonya abantu abo bonna abafuna ensimbi z’Emyooga n’ebagaana okuzizza abawalirize bazizze.
Omubaka Omukyala owa Lwengo era nga yeyawoomye omutwe mu nteekateeka eno awanjagidde government okulaba ng’esasanya amasaanyalaze n’amazzi mu bitundu bye Lwengo mwegatali.
Ssentebe w’ekibuga kye Lwengo Omulangira Joseph Lubega Bazonoona agambye nti mu kibuga kino balina okusoomozebwa kwekimotoka ekyetika n’okusomba kasasiro ssako n’oluguudo lwabwe olwa kolaasi olutaggwa.
Omubaka wa Bukoto-Midwest Isaac Ssejjoba Mayanja asabye ba Minister ababadde kumukolo guno okujjukiza Omukulembeze w’eggwanga okutuukiriza obweyamo bweyakola obw’okusasulira abantu b’Omuluka gwe Kalisiizo ettaka, basobole okuwoona ababatataganya kuttaka era ono yomu nasaba nti ekitundu kyabwe kirina enkayana z’ettaka nnyingi ez’etaaga okutunulwamu.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito