Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde empaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025, zigenda kutandika nga 03 omwezi ogujja ogwa May, era omupiira ogugenda okuggulawo empaka zino gwakuzannyibwa mu kisaawe e Wankulukuku.
Bazukulu ba Kannyana abe Ngabi Ennyunga bebagenda okuggulawo ne bazukulu ba Kabazzi aba Kasimba.
Omupiira ogwakamalirizo ogw’empaka zino gujja kubeerawo nga 07 June,2025, mu kisaawe e Wankulukuku.
Empaka z’ebika ez’omupiira ogw’okubaka zigenda okuzannyibwa okuva nga 25 okutuuka nga 27 April mu kisaawe e Namboole, ate final ejja kubeerawo ku lunaku emipiira gy’abasajja lwe gijja okutandika nga 03 May,2-25 mu kisaawe e Wankulukuku.
Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’ebitone, Owek Robert Sserwanga Ssalongo, bwabadde atongoza empaka zino mu Bulange e Mengo, mu lukiiko olwetabiddwamu abakulembeze ba ttiimu z’ebika ezenjawulo, akakasizza nti ebika byonna byakuyisa ekivvulu nga 03 May, e Wankululu mu ggomesi ne kanzu.
Okuyingira omupiira guno kwa shs 10,000/= ne 20,000.
Owek Robert Sserwanga Ssalongo agambye nti waliwo emizannyo emipya egyongeddwa mu mpaka z’ebika okutandika n’omwaka guno.
Omwaka oguwedde 2024, Obutiko bwe bwaggulawo empaka zino nga bakuba e Mamba Namakaka goolo 3-2 e Wankulukuku.
Bazukulu ba Nsamba abe Ngabi be bannantamegwa b’empaka z’omupiira ogw’ebigere omwaka oguwedde 2024, ate bazukulu ba Mbaziira abe Nnyonyi Nnyange be bannantamegwa b’empaka ez’okubaka.
Emamba Namakaka yekyasinze okuwangula engabo y’omupiira ogw’ebigere emirundi emingi 10 ate Olugave engabo 7.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe