Empaka z’obugaali eza masaza ga Buganda, Aziz Ssempijja okuva mu ssaza Bulemeezi yawangudde mu bavubuka abalenzi abavuga obugaali obwa Sports Bike, ate Kevin Nakato okuva e kyaggwe n’awangula ez’abawala.
Mu bavubuka abalenzi abavuga obugaali maanyi ga kifuba Emmanuel Ssekijoba okuva e Ssese yawangudde ate Sharuwa Bamukobeire n’awangula mu baana abawala.
Minister w’abavubuka emizannyo n’ebitone Owekitiibwa Ssaalongo Robert Sserwanga yasinzidde wano n’asaba abantu ba Buganda okuyambako abaana bano abavuga obugaali basobole okumalako emyetololo esatu egyisigaddeyo.
Obugaali buno bwakuddamu okutolontoka omwetololo ogwokusatu mu ssaza Ssese, oluvannyuma bagende e Buddu ate Empaka ezakamalirizi zibeere e Kyaddondo mu November 2024.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi