Batabani ba Kimbugwe ab’essaza Buluuli bawangudde aba Kaangaawo owe Bulemeezi mu mupiira ogw’ebigere ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2020.
Ggoolo ebadde 1 : 0.
Omupiira guno ogubadde ogwa kaasa meeme gubadde mu Kisaawe e Kasana Luweero.
Ggoolo emu yokka ewadde Buluuli obuwanguzi eteebeddwa Ssewanyana Robert mu Ddakiika eye 17 mu kitundu ky’omuzannyo ekisooka.
Bulemeeze ye Nnantameggwa w’omupiira ogw’ebigere gw’amasaza ga Buganda ogwa 2023.
Katikkiro Charles Pater Mayiga oluvanyuma lw’omupiira guno yebazizza Esaza Bulemeezi olwokutegeka omupiira ogwekitiibwa.
Katikkiro Mayiga atenderezza Omutindo ogwoleseddwa abazannyi mu mupiira nti guwa essuubi mu bye mizannyo by’eggwanga.