Empaka z’emizannyo gy’ebitongole by’obwa Kabaka Bwa Buganda egy’omwaka 2024 gikoemekkerezeddwa n’ekijjulo ekyenjawulo Ssabasajja Kabaka kyasiimye okugabula abakozibe okuva mu bitongole byonna ebizeetabyemu.
Ssaabasajja Kabaka bakozi abagabudde Sseddume w’Ente 4, erazigabuddwa abakozi mu Lubiri lw’e Mengo.
Ekitongole kya Buganda Land Board kyekisinze okukuηaanya obubonero obungi bubadde 297, nekiweebwa ekikopo.
CBS abategese empaka z’omwaka guno ekutte ekifo kya 4, Lubiri High school Buloba, ekutte kyakusatu, Namulondo Investment ekutte kyakubiri.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, bwabadde aggalawo emizannyo gino, awabudde abakozi okwagala emirimu gyabwe n’okwongera okumanyagana nga bayita mu mizannyo gino.
Katikkiro Mayiga, mungeri yeemu akunze abakozi okujjumbira ennyo okukola dduyiro okukuuma emiribiri gyabwe nga miramu bulungi.
Minister w’emizannyo n’abavubuka, Owek Robert Sserwanga, yalangiridde Buganda Land Board ku buwanguzi buno, bwekuηaanyizza obubonero obusinze obungi, okuva mu bujjumbize bwa ba ssenkulu mu mizannyo, , obujjumbize bw’abazannyi, okusamba omupiira, okubaka, emisinde, Volley ball, okusika omugwa n’ebirala.
Ssentebe wa ba ssenkulu b’ebitongole bya Buganda era ssenkulu w’ekitongole kya BICUL, omukungu Roland Ssebuufu, alangiridde ekitongole kya ssetendekero wa Muteesa 1 Royal University nti bebagenda okuteekateeka emizannyo gy’omwaka ogujja.
Ssenkulu wa Cbs era abadde ssentebe w’akakiiko kateeseteese omwaka guno, agambye nti batambulidde ku mulamwa ogugamba ommanyi?, nekiruubirirwa ky’okugatta abakozi ba Kabaka bonna n’okufaayo okumanyagana.
Mu kusooka abakozi baasookedde mu kukola dduyiro, eyetabyemu abakozi bonna.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Ebifaananyi: MK Musa