Omulangira Daudi Simbwa Kazibwe Golooba mutabani wa Ssekabaka Muteesa II.
Omulangira Omubuze Golooba olugyiddwa ku muzikiti e Kibuli gy’asaaliddwa essaala ya Salat al-Janazah, atwaliddwa butereevu mu masiro e Kasubi n’ayingizibwako mu nnyumba Muzibwazaalampanga omuterekeddwa kitaawe Ssekabaka Muteesa II ne ba Ssekabaka abalala basatu.
Olutuusiddwa mu Masiro, asoose kuyingizibwa mu nnyumba Muzibwazaalampanga ba Nnalinnya nebaloopera ba Ssekabaka okuseerera kwa muzzukulu wabwe.
Oluvannyuma agyiddwayo n’atwalibwa mu kifo ekirala gy’aterekeddwa.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Omulangira Golooba yali wa myaka 13 Obwakabaka webwagyibwawo.

Katikkiro agambye nti Omulangira Golooba alese Omuzaana Marian Lubogo, abaana 5, okuli abalangira 2 n’abambejja 3. Omulangira Ssekamaanya Simbwa eyali omulangira ow’okusatu naye yaseerera.

Katikkiro Mayiga alambuludde obukulu bw’olulyo Olulangira mu Bwakabaka, n’agamba nti Obulangira bw’abalangira n’abambejja butuyamba okuyunga emirembe gy’Obwakabaka nga bwegizze gitambula, ate n’okuggumizza Kabaka obutabeera yekka mu bbanga.
“Obuganda butudde ku masiga asatu, okuli Olulyo olulangira era mwemuva Kabaka, essiga eddala lye ly’Abaami erikulirwa Katikkiro, ate essiga ery’okusatu, ly’ery’Ebika erikuuma obuwangwa bwaffe, obutufuula abaana ab’Enda emu” Katikkiro Mayiga


Katikkiro Mayiga ayogedde ku Mulangira Omubuze Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba, nti abadde muntu mulambulukufu, era nga yamuyamba nnyo okumulambika ku ngeri Katikkiro gy’akolaganamu n’Abalangira n’abambejja abakulu.

Katikkiro Mayiga gambye nti Omulangira abadde muntu w’Abantu, ng’amanyi okukuuma emikwano ate ng’ayagala n’ebyemizannyo.
Katikkiro yebazizza abantu bonna abakoze ennyo okulabirira n’okujanjaba Omulangira Omubuze.
Omulangira Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba aterekeddwa mu masiro e Kasubi Nabulagala mu Kyadondo.
Gutusiinze nnyo twakumye bubi ayi Ssaabasajja Kabaka!