Ekika ky’Endiga mu Buganda, kyekimu ku bika byÁbaganda binnansangwa era ebigundiivu; Enjaza, Effumbe,Ennyonyi,Olugave, Endiga n’Engonge.
Ebika bino emyaka gyebyakamala gyegyo era Obwakabaka bwa Buganda gyebwakamala!
Akabbiro kÉndiga Mpologoma
Obutaka buli Mbaale mu ssaza Mawokoka
Omubala gwabwe guvuga nti Nnyabo Nabbosa, mpaawo alimuliisa endiga.
Omutaka Omukulu ow’akasolya ye Lwomwa.
Obwa Lwomwa bwakamala emyaka 480 gyokka.
Mu myaka 480, obwa Lwomwa bwakalyibwa Abataka 17 nga bwatandikira ku mulembe gwa Ssekabaka Nnakibinge.
Omutaka Lwomwa omubuze Eng. Daniel Bbosa Kakeedo ye w’e 17 !
Omutaka kati omubuze Eng. Daniel Bbosa Kakeedo yalya obwa Lwomwa mu June 2007 oluvannyuma lw’okuseerera kw’Omutaka Paul Bbosa mu December wa 2006.
Abeddira Endiga balina emirimu mu Lubiri egiwerera ddala 12 be ddu!
1. Bebakulemberamu omulimu gw’okuleegesa Mujaguzo.
2. Be bakuuma amaato ga Kabaka asatu okuli
i) Waswa (Eryato Kabaka mwasaabalira)
ii) Eryato Kujeemera.
iii) Eryato Mukwanogwannyanja.
3. Bebakuuma omulyango Kaalaala.
4. Ab’Endiga bebakuba Engoma Entamiivu n’amadinda gaayo.
5. Bebakuba Engoma Ekyejo kitta.
6. Bebakuba Engoma Tadde.
7. Bebakuba Engoma Basajja Nnyaanya.
8. Bebakuuma Ejjembe lya Kabaka Kyabaggu eriyitibwa Ssemuwuulu.
9. Bebakuuma Omulongo wa Kibuuka ayitibwa Kalangwa.
10. Bebakuuma ekibira Mmanvuzaggulu.
11. Bebazikiriza omuliro mu mbiri.
12. Bebakuuma ebintu bya Kibuuka Omumbaale.
Mu ngeri ey’enjawulo, ab’eddira Endiga bebaaleeta ekirowoozo ky’okutandikawo Empaka z’omupiira gw’ebika by’Abaganda mu 1948, era nezitandika okuzannyibwa mu 1950 ekika ky’Embogo mwekyawangulira ab’Enseenene.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K