Abakugu mu kuteekeratekera ebyenfuna n’ebyobulamu bawadde abasuubuzi amagezi obutalagajjalira bulamu bwabwe, nti kubanga ebyenfuna by’eggwanga kwebitambulira.
Dr Kizza Blair okuva mu Agakhan University Hospital Kenya, agambye nti amawanga agayaalirira eby’obulamu kibeera kizibu okukula mu byenfuna n’enkulaakulana endala.
Dr. Kizza abadde yeetabye mu nsisinkano n’abasuubuzi, wakati mu kwetegekera omwoleso gwebyobulamu ogugenda okubeera e Lugogo, okuva nga 7 okutuuka nga 9/9/2023 e Lugogo.
Dr Kizza ategeezezza nti omwoleso ogutegekeddwa aba Med Expo Africa, gwegusoose mu mawanga g’Obuvanjuba bwa Africa, era nga gwakuyamba bannansi bonna okumanya webayimiridde mu bulamu n’engeri gyebasobola okwenyigira mu kutumbula eby’obulamu n’ebyenfuna.
Dr Kiiza asabye abantu okugenda okwebuuza n’Okukeberebwa ku ndwadde ez’enjawulo.
Abakugu mubyobulamu abasoba mu 200 n’amalwaliro agenjawulo, bebasuubirwa okweetaba mu mwooleso guno okuwabula bannansi ku ndwadde ezenjawulo, n’okubasomesa eby’obulamu.
Bisakiddwa: Kato Denis