Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo ki Uganda National Examinations Board UNEB ne ministry y’ebyenjiriza bifulumya leero nga 30 January, ebyava mu bigezo bya PLE ebyatuulwa mu 2025.
UNEb erabudde abazadde b’abayizi abaatuula ebigezo bya PLE nga tebamazeeyo bisale by’amasomero, nti tebagenda kusobola kulaba alizaatisi z’abaana babwe nga bayita ku ssimu.
UNEB ne ministry yebyenjiriza baayisa ekiragiro nti tewali ssomero lirina kukugira muyizi kutuula bibuuzo byakolereredde emyaka 7, ku mutendera guno olwebisale bya term emu oba omwaka.
UNEB mumbeera eyo yagunjawo enkola ey’ikukwatagana n’amasomero, okulaba nti abayizi abatamazeeyo bisale tebawebwa alizaatisi zaabwe nebwebazisabira ku nkola ey’omutimbagano.
Abayizi okumanya ebibuuzo byabwe bakusindika obubaka bwa SMS ku ssimu nga bawandiisemu, PLE -index number y’omuyizi enzijuvu nebabusindika ku 6600 era buli message omuzadde wakusalibwangako sente shs 500.
Jennifer Kalule Musamba, ayogerera UNEB ategezezza Cbs, nti newankubadde essira litekebwa ku bazadde abataamalayo bisale, ntu naye naamasomero UNEB geebanja ssigaakufuna alizaatisi ssinga kizuulibwa nti waliwo ebisale bya UNEB ebitaasasulwa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis













