Obwakabaka bwa Buganda bukubirizza Abayizi ku mitendera egyenjawulo okwekuuma nga balamu bulungi, basobole okukola eby ebinaabagasa gye bujja era ebitwala Buganda mu maaso.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abafalaasidde okwekuuma Mukenenya n’Okufaayo okweekebeza nti ly’Ekkubo ly’Okukomya okusasaana kwa Mukenenya.
Katikkiro abadde asisinkanye abayizi abavudde mu masomero.n’amatendekero ga Buganda, babadde bazze kugula mijoozi egy’okuddukiramu emisinde gy’amazaalibwa ka Kabaka age 71.
Amatendekero ga Buganda gaguze emijoozi egisoba mu mutwalo omulamba.
Mu matendekero n’Amasomero g’Obwakabaka ne gannamikago agaguze emijoozi Muteesa the first Royal University eguze emijoozi 4,800, Buganda Royal Institute emijoozi 3000, Lubiri High school main campus ne Buloba Campus emijoozi 2,680, Lubiri Nnabagereka Primary school 3000.
Amasomero ga Nnamikago n’Abantu kinnoomu mubaddemu Mt St Henry’s High school Mukono, Buddo SS, Gombe SS, Stena Hill School ne Kabaale University.
Katikkiro era asabye bannabyaabufuzi obutaawukana ku bantu baabalonda , naabajjukiza okweenyigira mu buweereza bwa Ssaabasajja.
Ssentebe w’Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka era omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Hajji Prof Twaha Kawaase Kigongo, yebazizza abantu ba Kabaka abawagidde enteekateeka z’Emisinde, okukwasizaako Ssaabasajja.
Amatendekero,kampuni, ebitongole, bannabyabufuzi n’abantu kinnoomu bajjumbidde okugula emijjoozi.
Abantu ba Kabaka abaguze emijoozi omubadde omubaka eyakalondebwa owa Kira Municipality George Musisi aguze 50,, Hajjat Hadijah Namyaalo akulira wofiisi ya ssentebe wa NRM, aguze emijoozi gya Bukadde 15.
Amaka g’Obwapresident emijjoozi gya bukadde 10.
Abasuubuzi n’Abeegassi abaguze emijoozi abakulembeddwaamu CBS PEWOSA eyeeterekera.
Mu kisaawe ky’Ebyobulamu eddwaliro lya People’s Medical Hospital Kasangati erikulembeddwamu Lawrence Kinene liguze emijjoozi neriwaayo ne Ambulance ezinayambako Abantu ba Kabaka abaneetaba mu misinde n’Obujjanjabi obusaanidde.
DR Kisembo Ronex Tendo avuganya ku kifo ky’Omubaka wa parliament ya East Africa aguze emijoozi ne Certificate.
Emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssemunywa egy’emyaka 71 Emisinde gigenda kubaawo mu Sunday nga 12 April,2026 mu Lubiri e Mengo, ate enkeera nga 13 April gemazaalibwa g’Omutanda.
Emisinde giwagiddwa Airtel Uganda, CBS FM, BBS Terefayina, UNAIDS, Uganda Aids Commission, Fire Places, I&M Bank, Nivana mineral water nabavujjirizi abalala bangi, nga Omujoozi gugula shilling 25000.#
Bisakiddwa: Kato Denis











