Obwakabaka bwa Buganda butongozza Ambulance ezigenda okukozesebwa mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka eginaddukibwa ku Ssande nga 12 Kafuumuulampawu (April),2026 mu Lubiri e Mmengo.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ne Minisita w’Amawulire, Okukunga abantu era Omwogezi wa Buganda Owek. Israel Kazibwe Kitooke abaddewo ku lwa Minisita w’Ebyobulamu, be banjuliddwa emmotoka zino mu Bulange e Mmengo.
Ambulance eziwera 26 zeziweereddwayo amalwaliro n’ebitongole eby’enjawulo omuli ne Police okuwa obuyambi obwamangu eri abo abanaaba babwetaaze naddala okuddusibwa mu malwaliro.

Owek. Nsibirwa yebazizza abawaddeyo Ambulance okuyambako abaddusi abanaaba bafunye obwetaavu obw’enjawulo.
Ayongedde okukubiriza abantu n’ebitongole eby’enjawulo okwegatta ku nteekateeka y’okulwanyisa mukenenya naddala nga Ssaabasajja y’akulembedde kaweefube ono.
Emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’e 71, gyigulibwa ku shs 25,000/= ku Bulange e Mengo, ku Masengere, ku wofiisi za Airtel, ne ku bitebe by’amasaza byonna.#
Bisakiddwa: Kamulegeya Achilleo K.













