Ebisigalira by’Abajulizi abatuukirivu ab’omu Uganda ebimaze emyaka egisoba mu 120 nga bikuumibwa mu kibuga Vatican ekya Rooma, bikomezeddwawo ku butaka, nga Eklezia Katulika mu Uganda ejaguza emyaka 60 kasookedde balangirirwa mu lubu lw’abatuukirivu.
Bireeteddwa Rev Fr. Richard Nnyombi amanyiddwa nga Jjajja w’Abajulizi.
Ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ayaniriziddwa Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala Paul Ssemogerere, wamu ne minister omubeezi ow’ensonga z’amawanga amalala Hon Henry Oryem Okello.
Enteekateeka eno yawomwamu omutwe aba Ssettendekero ya Eklezia eya Uganda Martyrs University, nga bategese n’omwoleso gw’ebisigalira bino okuwa ekyanya Abakristu ne banna Uganda abalala bonna okubirabako, ku ttabi ly’e Lubaga okutandika ku Saturday nga 14 September okutuuka nga 31 October 2024.
Abajulizi Abatuukirivu abomu Uganda be baddugavu abaasooka okulangirirwa mu lubu lw’Abatuukirivu mu Eklezia Katulika mu nsi yonna, ekiwa Uganda okubeera ku mwanjo ennyo mu nsonga z’okukkiriza.
Bwabadde akwasibwa ebisigalira bino, Ssaabasumba Paul Ssemogerere agambye nti Abajulizi ba Uganda siba Eklezia bokka, kubanga ekitiibwa kyebaaweesa eggwanga lyaffe Eklezia Katulika siyeekifunamu yokka, kale nga waliwo obwetaavu bw’okunyweza obumu n’okwagalana mu nzikiriza zonna.
Okukomezebwawo kw’ebisigalira by’Abajulizi ba Uganda kikkaatiriza obunovu bw’eddiini banna Uganda bwebaafuna oluvannyuma lw’Abaminsane okuleeta eddiini mu ggwanga, nga n’okutuusa kati etinta era Abajulizi ba Uganda bayitibwa ba Jjajja b’okukkiriza mu Uganda.
Rev Fr. Richard Nnyombi agambye nti ebisigalira by’akomezzaawo kuliko ebya Noa Mawaggali, Matia Mulumba ne Kalooli Lwanga, nga bino bassibwa mu misaalaba ebyabajjibwa mu miti abajulizi bano kwebattirwa.
Abajulizi abatuukirivu abomu Uganda Abakatuliko bali 22 nga bano battibwa mu Myanga wakati wa 31 January 1885 ne 27 January 1887.
Baalangirirwa mu lubu lw’abeesiimi mu 1920 olwo oluvannyuma Omutukuva Ppaapa Paul VI n’abalangirira mu lubu Lwabatuukirivu mu 1964 mu St. Peters Basilica e Roma.
Kyali kijjobi ku lunaku olwo anti n’ebivuga ebinnansi ebyaffe mu Buganda nga Engoma, Engalabi n’enseege lwebyasooka okukubibwa mu Ssinzizo.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.