Minister wa Ssemateeka n’essiga eddamuzi Nobert Moa alagidde akakiiko kebyokulonda kayimirize ensimbi zekagabira ebibiina byobufuzi ebirina ababaka mu parliament, okutuusa ng’amaze okufulumya okulambika ku ngeri ensimbi zino gyezigenda okugabanyizibwa nga zesigamizibwa ku tteeka lya IPOD eppya.
Mu mwezi ogwokutaano,parliament yakola ennongosereza mu tteeka lya political parties and organizations Act ,eryakugira ebibijna byobufuzi ebiteetaba mu nteekateeka za IPod obutaweebwa nsimbi.
Etteeka lino era lyaawa minister wa ssateeka obuyinza okubagawo okulungamya ku ngeri etteeka lino gyerinateekebwa mu nkola, emitendera egitibwamu ebibiina byobufuzi ebirina ababaka mu parliament gyebinagoberera okwegatta ku IPOD negyebinafulumamu Omukago guno
Omukago gwa IPOD kinnajjukirwa nti gwaali gwabwannakyeewa, wabula oluvanyuma lwokuyisibwa ennongosereza mu tteeka lino erifuga ebibiina byobufuzi,Omukago gwa IPOD gwaterkebwa mu tteeka lino era nekifuulibwa kyabuwaze nti ekibiina ekinagaana okwetaba mu nteekateeka zomukago guno SSI kyakuweebwa nsimbi.
Cbs FM radio eno ebbaluwa gyerabyeko, minister wa ssemateeka nessiga eddamuzi Nobert Mao gyeyawandiikidde ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama, agambye nti oluvanyuma lwa president okussa omukono ku tteeka lino,akakiiko kebyokulonda tekakyaalina buyinza okusindiika ensimbi ezo eri ebibiina byobufuzi ,kwekukalagira kaziyimirize okutuusa nga ye minister alungamizza.
Minister Mao mu bbaluwa eno agamba nti yatandiise okwebuuza nabakwatibwako etteka kino kimuyambe okubaga okulambika ku ngeri ensimbi zino gyezikwaatibwamu.
Omwogezi wakakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi agambye nti abadde tanalaba ku bbaluwa eno.
Wabula ye Ssabawandiisi wekibiina ki Jeema Hajji Mohammed Katerega akakasiza nti minister Moa ennaku ntono eziyise, yabasisinkana nga ba Ssabawandiisi bebibiina byobufuzi ebiri wansi wa IPOd okubebuuzaako ku tteeka lino.
Etteeka eriyimiriza ebibiina byobufuzi ebitali mu mukago gwa IPOd, president Museveni yalisaako omukono nga 15 June,2025.
Mu kiseera kino ,gavument ewa ebibiina byobufuzi obuwumbi 45 buli mwaka nga zigabanyizibwa okusinziira ku muwendo gwababaka buli kibiina bekirina mu parliament.
NRM ku nsimbi zino efunako obuwumbi obusoba mu 30 olw’omuwendo gwababaka gwerina mu palament, Nup efuna obuwumbi 5 nobukadde 700 nebibiina ebirala okuli PPP,Jeema ,DP ,UPC nebiganana ezisigaddewo
NuP okuva ekisanja kino 2021-2026 lwekyaatandiika yagaana okwegata ku mukago gwa IPOd wadde ensimbi government zeewa ebibiina byobufuzi ezifuna obuwumbi 5 nobukadde 700 buli mwaka ,era zeyakozesa okugula ekitebe kyayo e Kavule
Oluvanyuma lw’etteeka lino okusibwako omukono, NUP singa egenda mu maaso nokugaana okwegatta ku mukago gwa IPOD ,SSI ya kuddamu kuweebwa nsimbi zino.#











