Ssabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja agambye nti ebbeeyi y’amafuta eyeyongedde okulinnya ku bbanga lya wiiki emu eyise, kye kimu ku bigenda okuteesebwako mu lukiiko lwabaminister olutuula buli monday basalewo ekiddako.
Mu kiseera kino litter y’amafuta aga Petrol eri wakati wa shs 5100 – 5500, ate diesel gali wa shs 4900 – 5100.
Omwogezi w’ekibiina ekigatta eky’abasuubuzi ekya KACITA Isa Ssekitto agambye nti government esaanye ekome ku kampuni z’amafuta ennene ezekobaana nezibeera nga zirinnyisa ebbeeyi buli wezaagalidde.
Mu ngeri yeemu Isa Ssekitto era agambye nti government esaanye ennyonyole banaUganda wetuuse ku nteekateeka y’okujjuza amaterekero gaayo ag’amafuta nga bweyasuubiza bannansi, kati emyaka 2 egiyise.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico