Ekitongole ekivunanyizibwa ku byobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization, (WHO), kironze munna Uganda Dr Richard Kabanda, era nga ye ssentebe w’akakiiko k’eby’obulamu mu Lukiiko lwa Buganda, okubaeera omu ku bakugu abanaatuula ku lukiiko oluwi lw’amagezi ag’ekikugu mu kitongole kino ku ngeri y’okulwanyisaamu endwadde.
Dr. Kabanda agenda kuweereza ku lukiiko olwa Global Strategic & Technical Advisory Group of Experts, olugenda okukuba tooci mu ngeri ekitongole kyensi yonna gyekiyinza okulwanyisa endwadde, n’okubunyisa amawulire agakwata ku byobulamu gategerekeke eri abantu baabulijjo.
Dr. Kabanda era nga yaakulira eby’okusomesa abantu ku ngeri y’okwetangira endwadde mu ministry y’eby’obulamu mu Uganda, era obuvunanyizibwabwe mu mulimu ogumuwereddwa omulala waakuyambako n’okubaga amateeka, okukuba tooci mugaliwo n’enkola ezisoboka eri abantu baabulijjo ku byobulamu.
Dr Kabanda, yoomu ku babadde ku mwanjo mu kulwanyisa endwadde mu Uganda, okuli COVID 19, Mpox, Ebola, nendala era nga yalondebwa n’okuba ssentebe w’olukiiko oluwi lwamagezi ageekikugu mu kitongole kyebyobulamu mu Africa, olwa Africa center for Disease control community health technical working group.
Cbs mukwogerako ne Dr. Kabanda ku buvunanyizibwa buno agambye nti Uganda yakuganyulwa nnyo mu kulondebwa kuno.#