Abadde munna kibiina kya Democratic Party era eyavuganya ku ntebe y’obukulembeze bwa DP Dr. Lulume Bayiga asaze eddiiro naayingira ekibiina kya PFF ng’agamba nti akooye obukulembeze bwa Dp obuliko nti bubaliisizza akakanja okumala ebbanga.
Lulume bayiga amaze ebbanga eriwerako mu kibiina kya Dp era abadde azze agugulana n’omukulembeze w’ekibiina kya Dp Nobert Mao, gw’alumiriza okutuunda ekibiina kyabwe mu NRM.

Lulume agambye nti alina essuubi nti PFF kye kibiina ekituufu ekirafubanira enkyukakyuka eyannama ddala mu ggwanga.
Omukulembeze w’ekibiina kya PFF ow’ekiseera Ssalongo Erias Lukwago agambye nti abantu bangi bakyegatta ku PFF olw’emiramwa kwekiyimiridde.
Lulume wasalidde eddiiro nga Dp ebadde yakkiriza abakwatire bendera ku kifo ky’omubaka wa MP owa Buikwe South nga tavuganyiziddwa.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif











