Kkooti enkulu e Kampala egaanyi eyali okukulembeze wa FDC Dr. Kizza Besigye n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya, okweyimirirwa ng’egamba nti okuyimbulwa kwabwe kwanditaataaganya okunoonyereza kwa police okugenda mu maaso mu misango egibavunaanibwa egy’okulya mu nsi olukwe.
Omulamuzi Rosette Comfort Kania, yaagobye okusaba kwabwe okw’okweyimirirwa bwategeezezza nti ababiri bano emisango egibavunaanibwa gyegimu ku misango ekisiinga okuba egy’amaanyi ennyo mu mateeka ga Uganda.
Omulamuzi Kania ategeezezza nti wadde nga Dr. Besigye ne Lutale babadde batuukirizza ebisaanyizo ebisinga obungi eby’okweyimirirwa; gamba ng’okubeera n’ebifo ebyenkalakkalira gyebabeera, emyaka egigenderedde n’okubeera n’ababeeyimirira abomuzinzi, kkooti erina okufaayo ku by’okwerinda by’eggwanga n’obukuumi bw’abantu.
Mu nsala ye esomeddwa omuwandiisi wa kkooti Salaam Ngoobi, omulamuzi Kania annyonnyodde nti Dr Besigye ne munne balina amaanyi mangi netutumu era singa bayimbulwa ku kakalu ka kkooti bayinza okutaataaganya okunoonyereza okugenda mu maaso mu mawanga agenjawulo.
Kigambibwa nti emisango givumanibwa abawawaabirwa bano bagiddizza mu bibuga ebyenjawulo mu nsi eziwerako omuli Greece, Kenya, Belgium, ne Uganda era okusinziira ku bawaaabi ba government abakulembeddwamu Joseph kyomuhendo ne Richard Birivumbuka okunoonyereza mu misango gino kukyagenda mu maaso.
Dr Besigye ne Hajji Lutale bavunaanibwa okulya mu nsi olukwe n’okulemererwa okuloopa ebikolwa ebyokulya mu nsi olukwe mu b’obuyinza.
Ababiri bano babadde mu kaduukulu mu kkomera ly’e Luzira okumala ennaku 147, okuva nga November 16, 2024, oluvannyuma lw’okukwatibwa ebitongole by’ebyokwerinda okuva mu woteeri ya Riverside e Nairobi mu Kenya .
Bavunaanibwa wamu ne Capt. Dennis Oola, omuserikale omuweereza w’amagye ga Uganda People’s Defense Forces (UPDF).
Besigye ne Lutale baasoooka kuvunaanibwa mu kkooti y’amagye ku misango gy’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka ,wabula omusango gwabwe gwasazibwamu oluvannyuma lw’ensala ya kkooti ey’oku ntikko.
Abawagizi ba Dr Besigye ne munne ababadde mu kooti balabise nga bibasobedde, nebasalawo okubayimbira nebayimba obuyimba obubabudaabuda.
Ate ttiimu ya bannamateeka ba Dr Besigye okuli Meeya wa Kampala Lord Erias Lukwago, alaze obutali bumativu ku nsala ya kkooti era nebategeeza nti bagenda kujulira.
Dr Besigye ne Hajji Lutale baziddwawo ku alimanda mu kkomera okutuusa nga April 30, 2025.
Bisakiddwa: Betty Zziwa