Wakyaliwo amatankane ku mayitire ga munnabyabufuzi Rtd Col Dr. Kiiza Besigye, eyakwatiddwa mu Kenya, wabula ng’ensonga ezaamukwasizza tezinategeerekeka.
Okusinziira ku mwogezi w’eggye lya UPDF Brig.Felix Kulaigye, Besigye asuubirwa okusimbibwa mu kooti y’amagye e Makindye leero nga 20 November,2024 ku ssaawa ttaano asomebwe emisango, wabula talambuludde oba ng’amagye gegaamukwatidde e Kenya ,gyakuumibwa wadde ekyamukwasizza.
Mukyala wa Besigye era nga ye ssenkulu w’ekitongole ky’ensi yonna ekya UNAIDS atadde government ku nninga eyimbule omwami we Col Dr Kiiza Besigye era agirumiriza nti yamukwatira ku muliraano e Kenya, nemukunguza okumukomyawo kuno nti era aliko ekifo kyamaggye wakuumibwa mu Kampala.
Winnie Byanyima era alumiriza nti omwami we Col Dr Kiiza Besigye yawambibwa mu Kenya bweyali agenze ku mukolo gwokutongoza ekitabo gweyali ayitiddwako munnabyabufuzi we Kenya Martha Karua.
Wabula omwogezi wa government ya Uganda era minister w’ensonga zamawulire, tekinologiya n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi ebya government okukwata Rtd Col Dr. Kiiza Besigye tabyegaanyi era tabikkiriza, agambye nti kasooke yetegereze ensonga eno, oluvanyuma aggya kutegeeza eggwanga ekiriwo.
Dr Baryomunsi agambye nti bwekiba kituufu nti government yeyakwaata Col Dr Kiiza Besigye wateekwa okubeerawo ensonga eyamukwasa, wabula nti ye abadde tanafuna mawulire malambulukufu ku nsonga eno, era ng’abadde akyayongera okugyetegereza.
Wabula kigambibwa nti Besigye yakwatiddwa mu woteeri gyeyabadde asuze mu Kenya, banne beyagenze nabo baasanze taliimu kyokka ng’ebintu bye mwebiri bakanze kumunoonya okumala ennaku 3 nga tebamulaba.
Gyebuvuddeko waliwo bannaFDC ekiwayi kye Katonga 36 abaakwatibwa munda mu Kenya nti gyebaali bagenze okubangulwa mu byobufuzi, nebakomezebwawo mu Uganda era nebaggulibwako emisango okuli egyekittujju nemirala.#