Kyadaaki ekitongole ky’amakomera mu ggwanga kikiriziganyizza ne banna mateeka ba munna kibiina kya FDC ekiwayi kye Katonga Rtd Col Dr. Kiiza Besigye addemu okufuna emmere eva bweru w’amakomera, oluvanyuma lwa Besigye okwekalakaasa nga talya ekibadde kitandiise okukosa obulamu bwe.
Family ya Besigye yokka yekkiriziddwa okumutwalira eby’okulya, era nga nabyo birina kusooka kwekebejjebwa.
Munnamateeka wa Besigye era Mayor wa Kampala Ssalongo Erais Lukwago agambye nti oluvanyuma lw’ekkomera okubakkiriza okuddamu okuwa Besigye emmere, kati kyebagala bagala omusibe wabwe anyumyeko n’abasibe abalala.
Lukwago agambye nti Besigye yabategeezezza nti obutakkirizibwa kunyumya namusibe yenna,nabamukyalirako bamulabira mu kalabirwamu, nakyo kimukosezza nnyo.
Cbs bwetuukiridde Frank Baine omwogezi w’ekitongole ky’amakomera ku nsonga za Besigye agambye nti talina takyazogerako.
Mungeri yeemu Lukwago agambye nti bamalirizza okukola ku mpapula ez’okwekubira enduulu mu kooti etaputa ssemateeka,nga bagala Besigye agyibwe mu kooti y’amagye.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif