Ekibiina kya Democratic Party Kiwanjagidde government eteekewo akakiiko akenjawulo nga kakyama kanoonyereze ku bakungu abalala mu KCCA abebakira mu nsonga za kasasiro we Kiteezi baleme kuggalirako bantu bamu mu makomera
Dp egamba nti tewakanya kyakuggalira abaali abakulembeze ba KCCA okuli Dorothy Kisaka,Eng David Luyimbaazi ne Dr. Daniel Okello ,wabula bagala nabalala abaali wansi wabano oba waggulu wabwe banoonyerezebwaako, abasatu abali munkomyo baleme kufuuka sadaaka z’abalala.
Mu lukungaana lwabanna mawulire olutudde ku kitebe kya Dp mu Kampala ,omwogezi w’ekibiina kino Ismail Kirya,agambye nti abantu bangi baalagajjalira emirimu gyabwe, naye batono abakakwatibwa, nga n’olwekyo balina okubeera eky’okuyiga eri abantu bonna abakwasibwa obuvunaanyizibwa.
Agamba nti nga Dp bagala wabeerewo akakiiko ake kyama era akeetengeredde kanoonyereze ku nsonga yonna eye Kiteezi, n’abalala bonna abaaviirako abantu 35 okufa.
Gyebuvuddeko akakiiko ka parliament akalondoola emirimu gy’ebitongole bya government kafulumya alipoota eyalaga nti.ba minister ba Kampala, saako n’omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ensimbi nti nabo basaanye bateekebwe ku fayiro y’emisango egikwata ku njega ye Kiteezi.
Ekifo ky’e Kiteezi mu Kyadondo kyassibwawo KCCA okuyiibwamu kasasiro yenna ava mu Kampala, era nekijjula, ekyamuviirako okubumbulukuka ku nkomerero ya July 2024 naakulukutaera naziika amayumba agaali galiraanyewo.
Emirambo 35 gyejazuuka, wabula waliwo n’abantu abalala abateeberezebwa okuba nga baasigalayo wansi mu kasasiro.
Dp mungeri yemu egamba nti akaseera katuuse government ekendeeza obuyinza okuva ku bantu abalondebwa omukulembeze w’eggwanga buddeko mu bakulembeze abalondebwa abantu, emirimu gisobole okutambula mu kitongole ekya KCCA
Bisakiddwa: Lukenge Sharif













