Ekibiina ki Democratic Party kyagala ekifo kyobwa sipiika wa Parliament ya Uganda kigattibwe ku bifo DP byerina okukulembera, mu nteeseganya z’ekibiina kino ez’okuzza obuggya enkolagana ya DP nekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM.
Mu mwaka 2022, DP kyateeka omukono ku ndagaano ey’okukolagana n’ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM, endagaano eyayogeza bannaDP bangi ebikankana era bangi nebalekulira ekibiina kino okwegatta ku bibiina ebirala.
Mu ndagaano eno, DP yaweebwa ebifo okwali ekifo kyobwa minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi ekirimu president wa DP Nobert Moa ,ekifo kyomukiise mu parliament y’omukago gwa East Africa ekirimu ssabawandisi wa DP Gerald Siranda nebirala
Kigambibwa nti ndagaano eyo ekiseera kyayo kyagwako, enteekateeka zikolebwa ezzibwe obuggya
Nobert Mao mu butongole yalangiridde nti agenda kwesimba ku kifo kyobwa sipiika, era nga DP erina ababaka 6 bokka mu parliament.
Ekifo kyobwa sipiika okuva Uganda bweyagenda mu nkola y’ebibiina ebingi ,kizze kibeeramu bannaNRM olwensonga nti kyekisinga ababaka bangi.
Wabula Nobert Mao agamba nti kyekiseera enkola ekyuuke ,DP etwaale ekifo kino.
Ekifo kyobwa sipiika mu kiseera kino kivuganyizibwako sipiika aliko Annet Anita Among, Lydia Wanyoto nga bannaNRM, Persis Namuganza atalina kibiina ne Nobert Mao owa DP ne Alioni Yorke Odria.
Nnaku ntono eziyise, omumyuuka wa sipiika Thomas Tayebwa yasinziira mu Rukiga district naayogera kaati nti kyabulabe nnyo ekifo kyobwa sipiika okukikwasa omuntu atali wa NRM, era yagamba nti kikafuuwe Nobert Moa okuweebwa ekifo ekyo.
Okulonda Sipiika wa parliament ey’omulundi ogwe 12 n’omumyuka we kwakubaawo mu May,2026, oluvanyuma lw’okulayiza ababaka ba parliament .#











