Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya Dp kategeezezza nti omuwendo gw’abegwanyiza okwesimbawo ku bifo by’ababaka ba parliament ku kaadi ya DP gukyali mutono nnyo, abantu 68 bebaakaggyayo empapula mu bbanga ery’ennaku 9.
Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko k’e byokulonda mu DP, Kennedy Mutenyo agambye nti wadde abagala kaadi okwesimbawo ku bw’ababaka ba parliament bakyali batono, nti naye abagala okuvuganya ku bwa Kansala bbo bangi ddala.
Mutenyo agambye nti boongeddemu ennaku eri abagala okuggyayo empapula baleme kubasibira bweru, wabula abalabudde nti baggye nga bamanyi nti bagenda kukwata Kaadi ya Dp sikuyisa bivvulu
Bisakiddwa: Sharif Lukenge











